TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Omusuubuzi w’omu Kikuubo bamuwambye omulambo ne bagusuula ku Lubigi

Omusuubuzi w’omu Kikuubo bamuwambye omulambo ne bagusuula ku Lubigi

Added 6th February 2011

Deo Luyinda omutuuze mu Nansana East I Zooni era nga musuubuzi wa muceere, binyeebwa n’ebijanjaalo mu katale ka Owino era n’edduuka mw’abadde akolera ne banne abalala mu Kikuubo  nga liriraanye ekizimbe kya Pioneer, abadde atundamu muceere.

Omulambo gwa Luyinda gwasangiddwa kumpi ddala nâ€

Deo Luyinda omutuuze mu Nansana East I Zooni era nga musuubuzi wa muceere, binyeebwa n’ebijanjaalo mu katale ka Owino era n’edduuka mw’abadde akolera ne banne abalala mu Kikuubo  nga liriraanye ekizimbe kya Pioneer, abadde atundamu muceere.

Omulambo gwa Luyinda gwasangiddwa kumpi ddala n’oluguudo olukutula ku lw’e Hoima okudda e Nabweru mu Zooni ya Nabweru South Zone Cell II.Y asangiddwa ng’ayambadde bulungi engoye ze yagendeddemu okukola era ng’ali mu ngatto.

Omulambo tegwasangiddwako nkwagulo yonna okuggyako omusaayi omutonotono ku mutwe nga kiteeberezebwa nti baatuze mutuge n’oluvannyuma ne bamusuula mu kifo omulambo we gwasangiddwa.

Yasangiddwa n’ebiwandiiko bye byonna ebiraga gy’akolera mu kiyumba kya Produce mu katale ka Owino wamu ne Kikuubo. Yabadde ne kaada za ATM bbiri eziri mu mannya ge, ssente enkalu 214,500/-, ssaako empeke eza Vitamin B ne C.

Nnamwandu Teddy Wannyana akolera mu ppaaka empya yategeezezza nga bba bwe yavudde awaka ng’amutegeezezza nti yabaddeko abantu b’atwalira emmaali kyokka ng’amugambye nti waakudda ng’obudde bukyali.

“Yakedde kugenda n’angamba nti akomawo mangu era nze yandese nange neetegeka kugenda kukola. Obudde bw’addirako bwe bwatuuse ne mukubira essimu nga teriiko era sseebase kubanga bwe zaaweze ssaawa 6:00 ez’ekiro ne nkubira mikwano gye n’ab’enganda zaffe nga mbagamba nti taata Frank tannadda ate nga tabadde na muze gwakusula bweru,” Wannyana bwe yategeezezza.

Agamba nti bwe bwakedde ku makya ne bagenda ku poliisi wamu n’okutandika omuyiggo kyokka zaabadde ziwera ssaawa 2:00 ez’oku makya ne babakubira nga  bwe waliwo omuntu asangiddwa ng’attiddwa mu Lubigi. Oluvannyuma baakakasizza nti yabadde bba Luyinda.
Mukwano gwe bwe bakola mu Kikuubo Fred Muteesaasira yategeezezza  nga bwe yabadde awadde Luyinda 1,200,000/- ng’aliko by’agenda okugula era nga yabadde waakuzimuddiza lwaggulo kubanga yabadde ne ssente ze yabadde agenda okufuna.

Yabaddeko ne by’ayagala okugula ku makya ne mmuwa ssente kyokka ng’alina ssente eziwerako ze yabadde agenda okufuna olweggulo. Namukubidde essimu ku ssaawa nga 1:00 ez’olweggulo n’antegeeza nga bw’ategeka okudda alabire omupiira gwa Man U ne Wolves ku kyalo e Nansana era naye n’amulinda.

“Bwe nnazeemu okukuba essimu ye nga teriiko ne ndowooza nti osanga omupiira gumunyumidde n’agiggyako. Obudde bwe bukedde ne bangamba nti yabuze, ate mu kaseera katono nti baamusse omulambo guli mu Lubigi,” Muteesasira bwe yagasseeko.
Luyinda abadde n’abantu bangi b’akolagana nabo mu Owino ne Kikuubo era nga mu bano mwe muli abakyala Rachael Nakku ne Mary Namale abaawanjaze ennyo nga bategedde ku kufa kwe.

Sgt. John Mukwaya mbega ku Poliisi y’e Nansana yategeezezza nti bakyanoonyereza ku butemu buno kubanga omulambo gwa Luyinda tegwasangiddwako biwundu byonna.

Mu kifo kino kyennyini abantu bana be baakasuulwamu ng’eyasooka yali Rachael Atuhairwe eyali akolera mu saluuni e Wandegeya gwe baasobyako ne bamwambula  ne bamunnyika mu mugga, omuvuzi wa bodaboda Ronald Mpanga gwe batta ne bamusuulako akabaluwa nga bamulanga kuganza bakabasajja n’abantu abalala babiri.

Poliisi omulambo gwa Luyinda yagututte mu ddwaaliro e Mulago nga bwe bagenda mu maaso n’okunoonyereza.

 

Omusuubuzi w’omu Kikuubo bamuwambye omulambo ne bagusuula ku Lubigi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...