TOP

Abaana 3 bafiiridde mu muliro

Added 18th January 2011

Bino byabadde mu Kasaato Zooni mu muluka gwa Kisenyi II omuliro bwe gwazingirizza abaana mu nnyumba nnyaabwe Lamula Nakakande mwe yabadde abalese n’omuwala omugenyi Annet Nakaggwa.

Mariam Namaato ow’emyaka 12 yasimattuse n’ebisago by’omuliro ku mikono ne mu mugongo bwe yabadde agezaako ok

Bino byabadde mu Kasaato Zooni mu muluka gwa Kisenyi II omuliro bwe gwazingirizza abaana mu nnyumba nnyaabwe Lamula Nakakande mwe yabadde abalese n’omuwala omugenyi Annet Nakaggwa.

Mariam Namaato ow’emyaka 12 yasimattuse n’ebisago by’omuliro ku mikono ne mu mugongo bwe yabadde agezaako okutaasa banne n’alemwa. Abaafudde ye Abubakar  Sessanga 10, Alaman-zaani Seggujja 6 bombi baana ba Nakakande ne  Amina nnyina yagenda Juba kukuba kyeyo n’amulekera Nakakande amumukuumire.

Abubakar Masangwa bba wa Nakakande era nga kitaawe wa Ssessanga ne Ssegujja ye abeera Masaka.
Omuliro gwatandise okwaka ekiro ssaawa 7:00 omukazi ayitibwa Muka Wasswa bwe yatabuse omutwe n’ateekera omuliro ennyumba mw’asula ne gukwata n’endala.

Obuyumba obwakutte omuliro bwabadde bukunukkiriza mu 100 nga bwa muzigo gumugumu kyokka nga bwawulwa na mbaawo. Obuyumba obwayidde bwa Bena Nanyanzi, Paasita Grace Kityo, Uthman Mugerwa ne Nabukeera Salima.

Ssentebe wa LC mu kitundu kino, Sande agamba nti muka Wasswa yafiirwa bba era baabadde bagezaako okumuggyako abaana kwe kukoleeza ennyumba. Bbo abaana ba muka Wasswa ng’omu wa myezi nga munaana omulala wa myaka ng’ebiri basigadde ku LC ye nnyaabwe akuumibwa ku Poliisi ya Owino.

Nakaggwa eyabadde n’abaana mu nnyumba nga beebase yagambye nti yabadde yeebase n’awulira ekiziyiro  n’agolokosa Namaato eyabadde yeebase mu kitanda ky’ekimu ne Sessanga.

“Seggujja yabadde yeebase okuliraana ekisenge wabula ebibaawo ebikola ekisenge kino byabadde biyidde ne bimubuutikira nga tetusobola kumuyamba ye Amina yavudde mu tulo n’adduka kiwalazima n’agwa mu muliro bonna twabawulidde nga balaajana naye nga tetusobola kubataasa okutuusa lwe baasirisse naffe ne tudduka olubabu,” Nakaggwa bwe yannyonnyodde.

Bino okubeerawo nga Nakakande mu nnyumba taliimu kyokka ne Nakaggwa yagambye nti yabadde tama-nyi gye yalaze. Nakakande olwategedde nti abaana bonsatule bafiiridde mu muliro n’azirika era baamuyoddeyodde okumutwala ku kalwaliro ka Doctor’s Clinic gye baatutte muwalawe Namaato nga tamanyi bifa ku nsi.

Emirambo gy’abaana baagiyooledde ku bitiiyo ne bagitwala e Mulago era mu kiseera kino ne kitaabwe Masangwa yabadde azze ng’akulukusa maziga n’ategeeza nti yasaba dda Nakakande amuwe abaana be n’abalemera.

Poliisi yalwanaganye n’omuliro okumala essaawa bbiri n’ekitundu era we gwazikiridde ng’abantu ababadde basula mu buyumba buno abasoba mu 100 basigazza ngoye ze baabadde bambadde.

Poliisi yalagidde abaafiiriddwa ebyabwe bonna ne baba-wandiika era baasiibye mu nn-yiriri olwo n’abeesimbyewo ku bifo eby’enjawulo ne batandika okubalambula ng’abamu bwe babasuula omukono.

Ssentebe w’eggombolola y’amasekkati ga Kampala, Godfrey Nyakaana  yawaddeyo 2,000,000/- ne bagula amabaati n’emiti baddemu okuzimba, Eyeesimbyewo ku bwa Meeya Erias Lukwago naye yatuseeyo n’abasaasira bw’atyo n’omubaka omukazi owa Kampala Nabirah Naggayi  Sempala n’atuukayo n’abagumya nti byonna bajja kubikolako baddewo.

Abantu bye boogera ku muliro mu Kisenyi:
Nsereko Makaabugo: Olw’okubeera mu mugotteko abantu bazimba bubi tebalina we bayita obuyumba buli kumukumu omuliro olukwata akamu gulandira ku kalala.

Abazimba mu Kisenyi baavu tebasobola kuzimba nnyumba zitegeerekeka kale kibeera kyangu nnyo obuyumba obw’engeri eno okukwata omuliro.

Kansala Abudkalimu Lukoda: Ekibuga ebifo ebisinga bye tulina sibiteeketeeke bulungi era Kisenyi ky’ekimu ku byo. Gavumenti esaana ekwatagane ne KCC okutumbula omutindo gw’abantu kubanga omuliro ogumu gukwata lwa mbeera ya kifo nga bw’eri.

Pasita Grace Kityo: Sikyesigamako nnyo naye kisoboka okubeera nga ne ffitina ebeeramu abantu ne bookerera bannaabwe lwakuba kizibu okukakasa kubanga tewali gwe baali bakutte. Ahmmed Nseegumire Kibedi: Olumu obuzibu buyinza okuva ku masannyalaze.

Obubenje obuzze bugwawo mu Kisenyi

January 15, 2011 – Ekicupa kya ggaasi kyayabise nga bbomu ne kitta abantu 3 mu Buwanika Zooni mu Kisenyi.
December 29, 2010 – Omuliro gwakwata amaduuka mu Kakajjo Zooni mu Kisenyi ne gwokya omusajja Mameni n’omwana we omuto n’okusaanyaawo ebyamaguzi.
November 7, 2010 – Omuliro gwakwata Kijjukizo House mu katale ka St. Balikuddembe (Owino) akali mu Kisenyi ne gwokya emmaali y’abasuubuzi.
July 25, 2010 – Bakanyama baazinduukiriza abatuuze mu Luzige Zooni ne babakoonera amayumba mwe basula ekyavaako okukwatibwa kw’akulira poliisi ya Kampalamukadde Augustine Kasangaki.
November 6, 2008 – Ekyuma kyasaanuuka ne kibwatuka nga bbomu ne kitta abaweesi 2 n’okulumya abalala 3 mu Kakajjo Zooni.
October 2008 – Kkolera yaddamu okutta abantu mu Kisenyi.
September 7, 2008 – Omuliro ogwatandikira ku masitoowa ga Florence Mukasa gwalanda ne gusanyaawo amayumba agasukka mu 20 mu Kisenyi.

(Bikungaanyiziddwa Richard Kayiira ne Benjamin Ssebaggala)

 

 

Abaana 3 bafiiridde mu muliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...