TOP

Buchaman avudde ewa Bobi n’akuba emimiro

Added 18th January 2011

Yagambye nti ekimuggye mu Fire Base Crew, lwakuba Bobi Wine abadde abakozesa naye nga yeegaggawaza yekka, bbo ne balya bukunkumuka n’olumu okuviiramu awo. Buchaman amaze emyaka 10 mu Fire Base Crew.

Wabula ne Bobi Wine amwanukudde nti, “Buchaman musajja nga nze. Ffenna mu kibiina tusasulwa. Y

Yagambye nti ekimuggye mu Fire Base Crew, lwakuba Bobi Wine abadde abakozesa naye nga yeegaggawaza yekka, bbo ne balya bukunkumuka n’olumu okuviiramu awo. Buchaman amaze emyaka 10 mu Fire Base Crew.

Wabula ne Bobi Wine amwanukudde nti, “Buchaman musajja nga nze. Ffenna mu kibiina tusasulwa. Ye bw’aba ssente abadde azirya kivubi endala ng’aziwa bamaama (Bakazi) si musango gwange.

Agamba nti mbadde simusasula, mmotoka z’abadde akyusa n’abakazi, ssente ezibigula aziggya wa? Buli kizibu ky’afuna addukira wange. Ne nnyina yakutukira mu ngalo zange. Bw’aba tasiima, waddembe okugenda kasita mu kibiina abadde takya’ina ky’amaanyi ky’atukolera. Oyo tatusala...” Bobi bwe yategeezezza ku ssimu eggulo.

Buchaman atandise n’ekibiina ekikye ky’atuumye ‘Badman Crew’. N’agamba nti, “Kangezeeko obulamu obupya kubanga abaana abaava mu Fire Base Crew bali wala n’okusinga ye abadde omumyuka wa Pulezidenti omulamba!

“Okumanya nga sirina kye ndaga mu myaka 10 gye mmaze mu Fire Base Crew, nsula mu kazigo e Mpererwe sso nga Bobi Wine asula mu ggoloofa. Buli kamu Bobi k’alina, kuliko entuuyo zange kyokka ye yekka afunamu. Abaana bange batuuse okusoma kyokka n’ezisasula fiizi siziraba, sirina bizinensi ndala sso nga Bobi Wine alina bbiici n’ebintu ebirala. Olwo obwo bubeera bwenkanya? Gwe laba Museveni n’omumyuka we Gilbert Bukenya. Buli omu alina ky’alagawo, naye nze nnina ka ki akampisa omumyuka wa Pulezidenti?”

Buchaman eyazze mu Bukedde eggulo yagambye nti ekyasinze okumunyiza gwe mudidi Bobi Wine gwe yafunye mu kivvulu ky’e Busaabala nga December 26, kyokka n’amuwaako busammambiro ate nga n’okuzimuwa yamaze kumwewuubako!” Kyokka tayogera ssente ze baamuwadde.

Bobi Wine, ku ky’okusasula munne obusente obutono yazzeemu nti, “Buli omu mu kibiina alina olunaku lwe kw’ategekera ekivvulu nga ssente zonna ezivaamu zibeera zize. Buchaman twamuwa lwa Ssekukkulu nga kirina kubeera Mukono. Kyokka ku mulundi guno yakitwala Wakiso ne kimusala.

Ekyange bwe kyatodde ey’e Busaabala, ate kati akolima! Bwe yankaabiridde ebizibu bye ne mmuwa 700,000/-. Kuno ekibiina kwe kyagasse okumuwola 1,000,000/- kyokka twewuunyizza okuwulira enkeera (ku Lwokuna) ng’agamba bw’avudde mu kibiina”.

Buchaman si y’asoose okwabulira Fire Base Crew. Abaamusooka kuliko Bebe Cool, Ceasarman, Master Parrot, Phantom Lavin, Black Boy, Witherman, Easy Nuts, Jjajja Nana n’abalala.

Alina ky’ayogera ku Bobi Wine ne Buchaman wandiika Bucha ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338.

Buchaman avudde ewa Bobi n’akuba emimiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...