Okugenda e Jinja mu takisi 8,000/- okuva ku 5,000/-, Masaka mu takisi ne Coaster 18,000/- okuva ku 8000/- Kyotera 25,000/- okuva 12,000/. Mu ppaaka ya bbaasi okugenda e Mbale 25,000/- okuva ku 10,000/-, e Mbarara mu bbaasi 40,000/- okuvaku12,000/-atekusiteegieno abatambula balwana okulinnya.
Fort Portal 30,000/- okuva ku 15,000/- , Hoima 25,000/- okuva ku 10,000/-. Ate e Gulu 25,000/- okuva ku 20,000/-Kabale 50,000/- okuva ku 20,000/-. Omu ku bannannyini bbaasi mu paaka, Moses Mutaawe yagambye nti ekivuddeko okwongeza ebisale lwakuba abantuabatambulaokugendamubyalo beeyongede nnyo ate ng’abavaayo okujja eKampala batono.
“Bbaasi zigenda mu byalo nga zijjudde kyokka tewali bantu be zikomyawo ate ng’amafuta gali ku buseere,†Mutaawe bwe yagambye. Yagasseeko nti okwongeza kuno kwa kaseera buseera nga kugenda kukoma ng’abagenda okulya Ssekukkulumu byalo bakendedde.
Ate ku takisi ez’enjawulo ezikola ku ng’endo ennyimpi nga Lugazi, Bulenga, Matugga bongeddeko 500/- ku ssente enkadde ze babadde batwalira. Abantu abamu naddala ku bbaasi baabadde batudde ku migugu gyabwe nga balinda emiwendo gy’entambula gimale okukkako balyoke balinnye.
Ebbeeyi y’ebyokulya Ebyokulya ebimu ebisinga okugulwa ku Ssekukkulu nabyo birinnye ebbeeyi. Mu katale k’e Nakasero ettooke eribadde ku 12,000/- lirinnye okutuuka ku 20,000/- ate erya 10,000/- kati liri wakati wa 15,000/- ne 17,000/-.
Enkoko empanga eng’anda eri ku 20,000/- ng’ebadde ku 13,000/- ate enzunguebaddeku75,000/-katieri ku 10,000/-. Obutunda musanvu babutunda 1000/- sso nga luli 10 bwe bubadde ku 1000/- ate Emicungwa esatu 1000/- wadde emabega gibadde 10 ku 1000/-. Ennyaanya akataasa kali ku 15,000/- akabadde ku 5000/-. Ennyaanya nnya entonotono ziri ku 1,000/-.
Petulooli abuze Amafuta ga petulooli gabuze ku masundiro g’amafuta agatali gamu nga Total ku luguudo lwa Port Bell ne Wampeewo. Ku malala bongeddemu 50/- ku ssente z’abaddeko. Abantu abangi abayaayaanira okutambula n’okugula ebintu bya Ssekukkulu bavuddeko obulippagano bw’ebidduka era kati enguudo ezitali zimu teziyitikako.
Amasang’anzira ga Mini Price, agaAllenRoad ne ku kisaawe ky’e Nakivubo tewayitika olw’omugotteko gw’ebidduka nga n’atambuza ebigere talinawaayita. Enguudo endala nga Nakivubo, Ben Kiwanuka , Allen Road ne Nabugabo zonna zikubyeko abatunda ebintu nga kw’ogasse n’ebizimbe bya akeedi ebisinga bikubyeko abantu abagula ebintu.
Ku maduuka amanene (supamaketi) nga Nakumatt, Uchumi, Shoprite ne Capital Shoppers kizibu omuntu okufuna w’asimba emmotoka olw’abantu abangi abagenzeeyo okugula ebintu. Akavuyo k’abantu n’ebidduka bivuddeko n’ababbi naddala abasazi b’ensawo okweyongera ng’abantu abagula ebintu babanyaga era ku Poliisi ya Mini Price emisango egisingako gya bubbi n’okusala abantu ensawo. Wabula poliisi yeegasse ne UTODA nebayiwa abaserikalemu bifo eby’enjawulo mu Kampala .
Ssekukkulu ereese akavuyo mu Kampala