Bagambye nti emmundu n’emizinga abajaasi ba Col. Gaddafi ze basumuludde babadde tebaziwulirangako bukya batandika kulwana mu Libya kuba olutalo lw’okuwamba ekibuga kino lwakamala wiiki bbiri.
Ebitongole by’amawulire omuli; Aljazeera, Reuters ne BBC eggulo byategeezezza nti emizinga gyabadde giboggola buteddiza e Sirte ng’abayeekera ba NTC bagwiisa obwenyi n’amagye ga Col. Gaddafi.
Abayeekera ababadde bakubwa obubi aba Gaddafi ku Lwokusatu baggyeyo ttanka n’ebimotoka ebirwanyi kyokka nabyo aba Gaddafi ne babitwala kirinyamutikka nga bakozesa ekikompola bya Scud Missiles ne Grad Rockets.
Abayeekera baakozesezza akakisa k’obulumbaganyi obwakoleddwa aba NATO olwo nabo kwe kuggyayo ttanka ttaano n’emmotoka ennwanyi kyokka basinayipa ba Gaddafi ne baziwereekereza ebyasi n’ebikompola ne zidda emabega.
Abayeekera beebulungudde ekitundu ekinene eky’ekibuga kino ate aba Gaddafi be bakiri munda. Balina eggye ddene n’ebyokulwanyisa gattako abacuba ne bannakyewa abalayidde obutawanika.
Abayeekera bawambye ekisaawe