Katikkiro yakubirizza Obuganda okutumbula ebyobulamu nga balima emmere emala n’okuyiga endya ey’omulembe, okwejjanjabisa mu bwangu nga bafunye endwadde, ate n’okuwagira abantu abafuddeyo okuyiira eddagala eriva mu miti n’ebintu ebyangu okufuna ng’ emiddo n’ebirime. Yagambye nti enkola zino zijja kuyamba abantu okuba abalamu n’okukola emirimu okukulaakulanya ensi yaabwe.
KATIKKIRO yeebazizza abawaddeyo eddagala
Katikkiro yeebazizza kkampuni ya Quality Chemicals eyatonye eddagala eribalirirwamu obukadde bw’ensimbi 10 liyambe okujjanjaba abantu n’okutumbula omutindo gw’ebyobulamu. Kabaka agenda kutongoza omwaka gw’ebyobulamu enkya nga September 16 ku mbuga ya Ssekiboobo mu Kyaggwe.
Ku mukolo guno Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo yategeezezza nti enteekateeka zonna ez’okwaniriza Kabaka ku mikolo gy’oku Lwokutaano ziwedde n’asaba Obuganda okujja mu bungi okwaniriza Omutanda mu ssanyu.
entegeka y’emikolo
Ssekiboobo yagambye nti Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ajja kusimba ejjinja ku ssomero ly’abaana abalondebwa ku nguudo, alambule omwoleso, oluvannyuma alabikeko eri Obuganda ate era abugabule, ate okugabula nga kuwedde alambule ekifo ky’emizannyo ekya Festino Cite, awategekeddwa mmotoka z’empaka, pikipiki, ekigwo ekiganda, empaka z’okuwuga, n’ekivvulu kye nnyimba nga Obuganda bumusanyusa.
Omwoleso gw’ebyobulamu gutegekeddwa obwakabaka bwa Buganda n’ekitingole kya Cultural Root Foundation era gwetabiddwamu ebitongole by’abalimi n’abalunzi, abasuubuzi, ab’ekitongole ky’ebisolo by’omu nsiko n’amakampuni ag’enjawulo nga gwa kuggalwawo ku Ssande nga September 18.
nabagereka alumbye abakabassanya abawala
Nabagereka Sylivia Nagginda alumbye abasajja abakulu abeefunyiridde okuganza abawala abato, n’agamba nti abasinga babazaalamu ng’ate tebalina gye babatwala ne baboonoonera ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Abakyala yabawadde amagezi okwekebeza kkansa w’amabeera ne nnabaana buli kiseera kubanga bifuuse eby’obulabe eri obulamu bwabwe.
Yabadde asomesa abantu ku ssomero lya Sir Apollo Kaggwa e Kirondo mu Ggombolola y’e Nakisunga, Mukono ku Lwokubiri ng’atongoza wiiki y’ebyobulamu.
Eyakulidde enteekateeka eno Dr. Donald Muguluma yagambye nti bagenda kujjanjaba abantu abasoba mu 10,000 e Nakisunga, Nakifuma, Buikwe ne ku kitebe ky’essaza mu Ggulu e Mukono.
Abantu 10,000 baakujjanjabwa mu wiiki y’ebyobulamu e Kyaggwe