TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Mutabani wa Gaddafi apakidde emmotoka za ssente 10 ne golodi

Mutabani wa Gaddafi apakidde emmotoka za ssente 10 ne golodi

Added 6th September 2011

Oluseregende  lw’emmotoka kumpi 300 omuli ttanka n’ebimotoka ebirwanyi bye byasaze  ensalo okuva mu Libya ne zeesoga Niger wakati mu kwerinda okw’amaanyi nga zirimu abajaasi 1,000.

Ku mmotoka zino kwabadde emmotoka ennene 10 ezitayitamu masasi ezaabadde zip

Oluseregende  lw’emmotoka kumpi 300 omuli ttanka n’ebimotoka ebirwanyi bye byasaze  ensalo okuva mu Libya ne zeesoga Niger wakati mu kwerinda okw’amaanyi nga zirimu abajaasi 1,000.

Ku mmotoka zino kwabadde emmotoka ennene 10 ezitayitamu masasi ezaabadde zipakiddwamu ssente enkalu eza pawunda, ddoola ne euro ne zzaabu omwereere abalirirwamu ddoola obuwumbi nga buna.

Mmotoka  endala kwabaddeko ez’amagye ezaabaddeko n’emizinga n’endala ez’ebbeeyi era ezitayitamu masasi  ezaabaddemu abantu abaabadde bakuumibwa obutiribiri.  Ensonda zaategeezezza nti emmotoka zaabadde ziduumirwa mutabani wa Gaddafi, Saif al Islam abadde yagumba mu kibuga Sirte ne kitaawe gy’alowoozebwa nti gye yeekwese.

Mmotoka zaatolontose mayiro kumpi 1,000 okuva mu kitundu ky’e Bani Walid nga ziwerekebwa bakomando b’eggye erikuuma Gaddafi n’abalwanyi b’eggye eppangise ab’eggwanga ly’aba Tuareg.

Okuva e Bani Walid okutuuka mu kibuga ky’e Toummo  ekiri ku nsalo, mmotoka zino kyazitwalidde ennaku bbiri. Zeesozze Niger  nga ziyingira mu kibuga ky’e Dirkou ekisembayo ku  nsalo ya Niger ne Libya. 

Mutabani wa Gaddafi apakidde emmotoka za ssente 10 ne golodi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...