TOP

‘Kaadi zaffe ezituyita ziruwa?’

Added 10th August 2011

Mzee Ssentamu agamba nti bwe yazudde ng’obusiki bwa Bobi obutaano bwonna buli Kampala, yasazeewo akolere batuuze banne akasiki k’omwanawe nabo babeere mu kintu ng’abaamukuza ku kyalo okusinga ab’e Kampala bokka lwe banaajaganya nga be yakula nabo tebafunyeemu.

Mzee Bannagomba

Mzee Ssentamu agamba nti bwe yazudde ng’obusiki bwa Bobi obutaano bwonna buli Kampala, yasazeewo akolere batuuze banne akasiki k’omwanawe nabo babeere mu kintu ng’abaamukuza ku kyalo okusinga ab’e Kampala bokka lwe banaajaganya nga be yakula nabo tebafunyeemu.

Mzee Bannagomba abasinga baamukazaako lya Muvabulaaya olw’okweyogerako ng’agamba nti ye yasooka okugenda e Bungereza mu disitulikiti ya Mpigi yonna mu myaka gya 50.
Wabula Bannagomba abamu beemulugunya nti embaga bagisomako mu mawulire, mutabani waabwe tannabaako ky’abategeeza wadde okubayita.

Mzee Ssentamu agamba nti ateeseteese okutta ente 3 z’agenda okugabula ab’ekika wamu n’abataka ku mukolo gw’akasiki ka mutabaniwe  akanaabaawo ku Ssanda nga August 21, 2011, era omukolo gwakubeera mu maka ge  yazimbira nnyina wa Bobi Wine ,omugenzi Margret Nalunkuuma agali mu kabuga k’e Kanoni.

Omukolo guno ogusuubirwa okuba makunale gwakutandika na kitambiro kya mmisa.
“Ndi musanyufu olwa mutabani wange Robert okwevaamu n’asalawo okuwasa ate n’asalawo agattirwe e Lubaga ng’omusajja Omukatuliki. Kino kibadde kimugwanidde anti nange e Lubaga gye nagattirwa ne kabiite wange ono Maria Mangadarena Namale mu mwaka gwa 1967.

Lutikko y’e Lubaga era we waagattirwa kitange, omugenzi Joseph Walakira ne maama Malita Nakirijja ng’ate ne Jajjange gye yagattirwa. N’olwekyo kirungi Kyagulanyi okugoberera obuufu bwa bakadde be”.

Wabula abatuuze abasinga abaayogeddeko ne Bukedde baategeezezza nti tebannafuna kutegezebwa ku mbaga eno mu butongole ng’ate ennaku ziweddeyo kye bagambye nti kiyinza okugibasubya.

‘Ab’e Gomba sisobola kubavaamu’

Bobi Wine bwe yabuuziddwa ku nteekateeka z’e Gomba yagambye nti ku kasiki  kw’agenda okutegeereza Bannagomba bonna ekigenda mu maaso ku mbaga wabula n’atangaaza nti alina bangi be yamala edda okuyita naddala e Kanoni.

Yagambye nti enteekateeka ku bantu b’e Gomba ezisooka yazimala ng’alina abantu 20 b’agenda okuleeta ku Serena era bano kkaadi zinaatera okubatuukako. Yagambye nti ne kitaawe alina abantu be b’agenda okuyita era kaadi wakuzimuwa.

Bobi b’asinze okuyita b’ebo be yasoma nabo mu masomero nga Kanoni Umea P/S, St. Aloysius Bukalagi n’amalala saako be yakula nabo ku kyalo.

‘Kaadi zaffe ezituyita ziruwa?’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...