Â
Omwogezi w’akakiiko addukanya ekisaawe ky’e Nakivubo, Fred Kateregga yategeezezza nti, ku luno tebagenda kukkiriza basuubuzi bano kumala gazimba midaala ku ttaka lino nga tebamaze kukkaanya nabo ku zimu ku nsonga ze balaba nti z’entuufu nga bannanyini ttaka okwazimbibwa akatale kano.
  Â
Kateregga yannyonnyodde nti, abantu basaana bakimanye nti ettaka okwazimbibwa akatale kano, lya kisaawe ky’e Nakivubo awalina okubeera paakingi y’abazze okulaba omupiira.
  Â
Yayongeddeko nti, akatale kaagenze okukwata omuliro nga baawandiikidde dda Musisi nga beemulugunya ku mutemwa gwa ssente KCCA z’erina okuwa ekisaawe olw’ettaka ly’akatale kano kyokka nga zizze tezibaweebwa.
  Â
Agamba nti ettaka ly’akatale kano tebalibawanga wabula kabaleetedde ebizibu omuli ebintu okwonooneka gamba nga bwe kaakwata omuliro mu 2009 ne basasula 6,000,000/- ezaazimba ekisenge ekyamenyeka ate nga ne ku luno kyamenyese nnyo.
bya basasi ba bukedde
Ab’ekisaawe bagobye aba Park Yard