TOP

Bunkenke

Added 1st July 2011

ebigenda okumenyebwa olw’obutabeera ku pulaani, ebimu byazimbibwa  mu kkubo  ebirala  tebirina mmotoka we zisimbwa
City Planner, George Agaba yagambye nti ku bizimbe ebitalina paakingi okuli akeedi ezikoleramu abasuubuzi abangi mu Kampala, bagenda kulagira bannyinizo okumenya omwaliiro mu

ebigenda okumenyebwa olw’obutabeera ku pulaani, ebimu byazimbibwa  mu kkubo  ebirala  tebirina mmotoka we zisimbwa
City Planner, George Agaba yagambye nti ku bizimbe ebitalina paakingi okuli akeedi ezikoleramu abasuubuzi abangi mu Kampala, bagenda kulagira bannyinizo okumenya omwaliiro mulamba ku bizimbe byabwe bagukolemu ‘paakingi’. Ekyo  bwe batakikola bigenda kumenyebwa.

Ensonda zaagambye nti  ebizimbe kuliko ekya Gazaland ekya  Tom Kitandwe, Sunset Arcade eya  Manisulu Matovu Yanga,  Quallicell ne Jesco e Nakivubo ebya  Drake Lubega.

Kyoka Drake Lubega  yagambye nti  ebizimbe bye okuli Qualicel Bus Terminal, Jesco , Majestic Plaza, Qualicel House ku luguudo William birina  pulaani ezaakakasibwa KCC. “Twabizimba bayinginiya ba KCC  balabirira omulimu, kati  omutawaana guva wa?”.

N’agamba nti “ ebizimbe ebimu nninako ebifo omusimbibwa mmotoka ng’ekya SB Plaza kyokka ebitaliiko paakingi yali teteekeddwa kubeerako okusinziira ku bufunda bw’ekifo”

Mansoor Matovu Yanga nannyini,  MM plaza, Sunset  Arcade ne Zainabu Plaza:  Abagamba nti tuzimba mu bibangirizi bya nguudo mbadde ng’amba nti be babitunda. Oyinza otya okutunda kaabuyonjo eziyamba abantu bo ate n’onenya gw’oguzizza ng’omuwadde ne pulaani y’ekizimbe ekigya mu kifo ekyo ate bw’amala okukizimba n’omunenya nti azimbye mu kifo kikyamu! Muky.

Musisi mulabula nti bw’aba amenya atandikire ku bizimbe ebikyali mu misingi nga bwe yakola ekya Kalungi naye ekiwedde bw’akikwatako aba agenda kutwongera kutugaggawaza kubanga ekizimbe tekizimbibwa kakadde kamu.

“Okutereeza ekibuga tekitegeeza kumenya bizimbe, asooke akole ku nguudo embi , okuyoola kasasiro, okutereeza eby’obulamu, okulwanyisa amataba ng’akola ku myala naye ebizimbe byaffe asooke abyesonyiwe kubanga be baatuwa pulaani”, bwe yagalabudde.

Tom Kitandwe nannyini Gaza Land ne Galiraya: Buli kizimbe kyange kirina pulaani entuufu era zindi mitwetwe. Ebikwekweto bya KCCA bigenda kukosa bagagga bamenyi b’amateeka naye nze tebinkwatako. Ebyali ku pulaani nnabiteekako kyokka ebitaliiko saabissaako.

Abasuubuzi abakolera ku bizimbe bino baalaze okutya olw’okutataaganyizibwa kyokka abasing balowooza nti ebyogerwa okumenya ebizimbe oyo pokopoko wa byabufuzi.

Baagambye nti baludde nga beemulugunya olw’ebizimbe bino okutonnya n’okwanjaalamu amazzi kyokka ne batayambibwa, n’olwekyo okubimenyawo balaba tekisoboka.

Ebizimbe  42 ebigenda okusooka okumennyebwa mu  wiiki bbiri zokka okuva kati kuliko
wooteeri ez’ebbeeyi okuli New Madagascar Buziga ne Virgin Island e Bugolobi; amakanisa okuli ey’Abapolotesitante ku Nabunnya mu Lubaga; galagi ttaano awakanikirwa mmotoka; n’amayumba g’abantu ssekinnoomu omuli n’ey’omusomesa w’e Makerere Prof. Edward Kirumira mu Namere Zooni e Mpererwe.

George Agaba yagambye nti bakoze olukalala lw’ebizimbe ebisukka 150 ebigenda okumenya e  Makindye, Kampala Central, Lubaga, Nakawa ne Kawempe nga mu buli Divizoni mulimu ebizimbe ebisukka 30 ebizuuliddwa nga byazimbibwa  mu bukyamu, bye bagenda okumenya amangu ddala.

Ku lukalala lw’ebisookerwako okumenyebwa, Nakawa y’esinzaako ebizimbe ebingi 18, n’eddirirwa Kampala Central n’ebizimbe 8, Lubaga 8, Makindye 6mukaaga ate Kawempe  bibiri (2).

Tutandikira ku bitalina pulaani

Dayirekita w’olukiiko lwa Kampala Capital City Authority (KCCA) Muky. Jeniffer Musisi Ssemakula yagambye nti batandikidde ku bizimbe ebitali ku pulaani bye bagenda okumenya mu wiiki bbiri zokka, bazzeeko ebyo ebyazimbibwa mu kitundu ekiteekeddwa okubeera eky’oluguudo (road reserve), basembyeyo ebitalina ‘paakingi’ n’ebyakyusa pulaani bannyinibyo ne bazimba ebintu ebyawukana kw’ebyo ebyakakasibwa.

“Bannyini bizimbe bino bonna twabawadde ebbaluwa ezibalagira okubyemenyera mu nnaku 28 era zaaweddeko. Tugenda kusindika abakozi baffe babimenyewo”, bwe yagambye.

Muky. Musisi yatadde  ebirango mu mawulire ku Mmande ng’alabula okukwata bannannyini bizimbe bino bavunaanibwe olw’okuzimba akeedi, wooteeri n’amaduuka mu ngeri emenya amateeka.

Normal 0 false false false EN-US X-NONE X-NONE /* Style Definitions */ table.MsoNormalTable {mso-style-name:""Table Normal""; mso-tstyle-rowband-size:0; mso-tstyle-colband-size:0; mso-style-noshow:yes; mso-style-priority:99; mso-style-parent:""""; mso-padding-alt:0in 5.4pt 0in 5.4pt; mso-para-margin-top:0in; mso-para-margin-right:0in; mso-para-margin-bottom:10.0pt; mso-para-margin-left:0in; line-height:115%; mso-pagination:widow-orphan; font-size:11.0pt; font-family:""Calibri"",""sans-serif""; mso-ascii-font-family:Calibri; mso-ascii-theme-font:minor-latin; mso-hansi-font-family:Calibri; mso-hansi-theme-font:minor-latin; mso-bidi-font-family:""Times New Roman""; mso-bidi-theme-font:minor-bidi;}

Lukwago alaze ebiriwo mu bukyamu

Erias Lukwago yanokoddeyo ebimu ku bizimbe  ebiriwo mu bukyamu  okuli  Imperial Royale e Nakasero eya Karim Hirji  egambibwa nti eri mu kkubo.

Ekizimbe kya  Jesco okumpi n’ekisaawe ky’e Nakivubo ekyazimbibwa okumpi n’omwala, ekizimbe okuli Supermarket ya Nakumatt ekyakyusa pulaani gye kyasooka okuwaayo ne bakizimbako supermarket mu kifo kya wooteeri.

Lukwago yagambye nti n’ebizimbe eby’obuwangaazi ebiri mu kibangirizi kya Centenary Park  birina okumenyebwa kubanga bikontana n’endagaano eyakolebwa wakati w’olukiiko lwa Kampala ne Sarah Kizito bwe baali bamuwa ekibangirizi kino okukisimbamu omuddo.

Normal 0 false false false EN-US X-NONE X-NONE /* Style Definitions */ table.MsoNormalTable {mso-style-name:""Table Normal""; mso-tstyle-rowband-size:0; mso-tstyle-colband-size:0; mso-style-noshow:yes; mso-style-priority:99; mso-style-parent:""""; mso-padding-alt:0in 5.4pt 0in 5.4pt; mso-para-margin-top:0in; mso-para-margin-right:0in; mso-para-margin-bottom:10.0pt; mso-para-margin-left:0in; line-height:115%; mso-pagination:widow-orphan; font-size:11.0pt; font-family:""Calibri"",""sans-serif""; mso-ascii-font-family:Calibri; mso-ascii-theme-font:minor-latin; mso-hansi-font-family:Calibri; mso-hansi-theme-font:minor-latin; mso-bidi-font-family:""Times New Roman""; mso-bidi-theme-font:minor-bidi;}

Abasuubuzi bye boogera

Maryn Tumusiime (Omusuubuzi ku Gazaland): Mpagira okumenya ebizimbe ebyo okutereeza entekateeka y’ekibuga. Kampala waffe yeetaaga okuddabulula mu ngeri ey’omulembe. Tunulira oluguudo lwa William lwonna lwafuuka paaka ya Loole. Abagagga b’awano bakola bibayamba olwo ffe abasinga ne tusigala nga tunyigirizibwa.

Ekibangirizi kya Ssemateeka abantu we baali bawummulira, abapoliisi baakyezza kye kimu ne Centenary Park abagagga kye baatwala.

AMINU Ssegirinya (Omusuubuzi ku Gazaland): Ebizimbe ebyo bannannyini byo banene mu Gavumenti. Babizimba ku kifuba ekiro. Sirina ssuubi nti KCCA eneesobola okubimenya.

Geoffrey Nanjuba (Omusuubuzi ku Gazaland): Bannannyini bizimbe ebyo tebagambwako. Tetwagala KCCA kutusiba kiwaani. Tewali kye bagenda kukola.Twekubidde enduulu emirundi mingi gye bali kubanga akeedi zaffe ezisinga ziyiikamu amazzi naye tebafaayo kyokka bagenda mu maaso kutuleega za layisinsi.

Bunkenke

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...