TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Tulongoose ebifo by’obuwangwa -Nabagereka

Tulongoose ebifo by’obuwangwa -Nabagereka

Added 29th June 2011

“Obulambuzi kikulu nnyo wano mu ggwanga lyaffe era njagala wonna mu Uganda twongere okwenyigira mu kulambula ebifo ebyebyafaayo n’ebyobuwangwa ate n’okubirongoosa byongere okuba nga bisikiriza bannaffe abava ebweru w’eggwanga ate okujja okulambula,” Nnabagereka bwe yagambye n’awa ekyoku

“Obulambuzi kikulu nnyo wano mu ggwanga lyaffe era njagala wonna mu Uganda twongere okwenyigira mu kulambula ebifo ebyebyafaayo n’ebyobuwangwa ate n’okubirongoosa byongere okuba nga bisikiriza bannaffe abava ebweru w’eggwanga ate okujja okulambula,” Nnabagereka bwe yagambye n’awa ekyokulabirako ky’Amasiro, ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba ko n’ekizimbe kya Bulange bye yagambye nti byetaaga okwongera okulongoosa bituukane n’omutindo ate n’abaana n’abazzukulu abalijja babisange nga birungi.

Nabagereka ng’a-yogera eri abee-tabye mu mwoleso gw’eby’obulambuzi n’obuwangwa mu lubiri ogwetabiddwako ne Namasole Zzirimbuga, baminisita Appolonia Mugumbya, Mariam Mayanja, Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Mohamud Ssekimpi kko ne Minisita Nakiwala Kiyingi eyategese omwoleso guno, yagambye nti Obulambuzi kimu ku bintu ebisobola okugaggawaza abantu mu bwangu nga tebataddemu nsimbi nnyingi nti kyokka bulagajjaliddwa.

Wano we yasinzidde n’akubiriza abantu okweyunira okulambula ebifo nga zoo, Wildlife Centre e Ntebe, amalundiro g’ebisolo n’ensozi nti kuba bingi ebiriyo bye batamanyi ate nga bya mugaso singa bazuula obukulu bwabyo.

Nabagereka mu Lubiri yalambudde omudaala gw’ebyewalula omwabadde ttimba gwe yakutteko ekyacamudde abantu n’emmondo efaanaanyiriza engo. Ebirala ebyamusanyusizza mulimu empologoma, engo, emisota egya buli kika enfudu ez’emyaka 40 ate n’ebintu ebirala omwabadde ensujju ezitowa kkiro 20, emicungwa n’emiyembe egy’akula ne giwola.

Abataka abakulu b’ebika nabo baayolesezza ebikolebwa mu bika byabwe era ng’ekika ky’Omusu kyasanyudde nnyo Nabagereka kubanga kumpi buli eyabaddewo yabadde amumayi nga wa luganda lwe.

Nga tannatuuka mu lubiri yasookedde ku luguudo Kampalamukadde ku nnyumba ya Captain (Kapere)Lugard gye yalagiddwa entambi z’ebyafaayo bya Buganda ebitali bimu n’oluvannyuma n’agenda mu Bulange e Mmengo gye yavudde n’agenda ku Wankaaki wa Twekobe mu kifo omwateekebwa ebyafaayo bya Kabaka Mutebi mwe yasanze n’ebifaananyi bya Kabaka Mutebi ng’akyali muto ebyamucamudde.

Ye omumyuka wa Katikkiro Ssekimpi era nga ye yakiikiridde Katikkiro abantu yabasabye obulambuzi bakitwale nga kintu kikulu nti kuba kye kisobola okutunda eggwanga lyabwe mu kaseera akatono ate Minisita Nakiwala n’awera nti ssi baakuttira ku liiso abaliwo okuzza emabega enteekateeka ze bakola okutumbula obulambuzi mu Buganda.
  

            

Tulongoose ebifo by’obuwangwa -Nabagereka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...