TOP

Loole esse 6 mu Kalittunsi e Katwe

Added 25th June 2011

Akabenje kano kaaguddewo ggulo ku  luguudo lwa Kalitunsi oluva ku Lubiri lwa Kabaka okugattae Katwe  ku ssaawa ya Kwini. Lukululana eno UAM 657L yatandikidde ku ssundiro ly’amafuta erya Total okugaana okusiba.

 

Mmotoka ya Ipsum  UAJ 509Q eyagibadde mu maaso gye yatandikiddek

Akabenje kano kaaguddewo ggulo ku  luguudo lwa Kalitunsi oluva ku Lubiri lwa Kabaka okugattae Katwe  ku ssaawa ya Kwini. Lukululana eno UAM 657L yatandikidde ku ssundiro ly’amafuta erya Total okugaana okusiba.

 

Mmotoka ya Ipsum  UAJ 509Q eyagibadde mu maaso gye yatandikiddeko okutomera nayo n’etomera  eyagibadde mu maaso nayo Ipsum namba UAF 647R. Lukululana yagenze bw’enyiga emmotoka ate nga zo bwe  zinyiga pikipiki za bodaboda ezaabadde ku siteegi mu masanganzira awali ekkubo erigenda mu Kisenyi.

Mmotoka entono yazigoyezza n’eziggya ku luguudo ne zigwa mu luwonko lw’oluggya lw’omuzikiti oguliraanyeewo.

Dereeva wa mmotoka gye yatandikiddeko okunyigay afiiriddewo era poliisi omulambo gwe ye yagutemye mu mmotoka nga yonna emugoyezza. Ku bafudde kubaddeko abasajja bataano n’omukazi omu.

Fred Muhanuzi nnannyini mmotoka ya Ipsum nnamba UAF 647R eyasimattuse akabenje era ng’ayogera akankana , ategeezezza nti nti ye tategedde na lukululana gye yavudde.

“Mmotoka zibadde bulungi mu lunyiriri era mpulidde kibwatuka nga mmotoka zitomera eyange era Katonda y’amponyezza n’omwana wange gwe mbadde nva okukima ku ssomero tuleera n’ensamula ebbali,” Muhanuzi bwe yagambye.

Omuduumizi wa poliisi eya Kampalamukadde, Siraje Bakaleke yagambye nti abafudde basogonyose nnyo nga tebannaba kumanyika mannya.

Omu ku bakolera mu kifo ekyo, Henry Mukasa agamba nti omuku baafudde  abadde ayitibwa Kennedy ate omukyala abadde musaabaze ng’alamuza piki-piki emutwaleko e Makindye.

Ekifo kino kirimu ebinnya ebinene bingi. 

Loole esse 6 mu Kalittunsi e Katwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....

Omukuumi abuzeeko katono ok...

OMUKADDE aloopye bba gwe bamaze naye mu bufumbi emyaka 27 lwa kumuyita malaaya n'amugoba ne mu nyumba.

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...

Mutebi (mu katono) ng’alaga amabwa ku kabina ke.

Abajaasi abalwanyisa envuba...

ABAVUBI babiri ku mwalo gw’e Wanyange mu Ggombolola ye Mafubira e Jinja bakigguddeko, abajaasi abalwanyisa envuba...