TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Gaddafi addusizza mukazi we ne muwala we ekibabu

Gaddafi addusizza mukazi we ne muwala we ekibabu

Added 19th May 2011

Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde, Aisha yavaayo ne yeenyigira mu lutalo lw’okutaasa kitaawe ku b’eggye ly’omukago gwa NATO. Yawera nti kikafuuwe kitaawe okuva mu buyinza, era yakuba olukung’aana ku Lubiri lwa kitaawe olw’e Bab al-Aziziyah n’agamba nti, “Omuntu ayogera ku by’okulekuli

Ku ntandikwa y’omwezi oguwedde, Aisha yavaayo ne yeenyigira mu lutalo lw’okutaasa kitaawe ku b’eggye ly’omukago gwa NATO. Yawera nti kikafuuwe kitaawe okuva mu buyinza, era yakuba olukung’aana ku Lubiri lwa kitaawe olw’e Bab al-Aziziyah n’agamba nti, “Omuntu ayogera ku by’okulekulira kwa Col. Gaddafi abeera ng’omwana ajoboja n’ebigambo ng’ali mu kuyiga okwogera. Kino ky’ekiseera abalina endowooza eyo bakimanye nti ewulikika ng’ekivumo mu matu ga bannansi ba Libya.”

Wabula Aisha Gaddafi yafunye ekyekango ennyonyi bwe zaakubye  Olubiri lwa Gaddafi luno nga April 30, ne zitta mutabani wa Gaddafi asembayo obuto Saif al-Arab n’abazzukulu basatu.

Ekikangabwa kino era kyatuuse ne ku nnyina Safia Farkash kubanga bbomu we zaakubira, yasangibwa ali mu Lubiri luno ne bba Gaddafi.   Omukutu gw’amawulire ogwa Al Arabiya gwategeezezza nti ekikangabwa kino kye kyaleetedde Gaddafi okusalawo okutolosa mukaziwe ne muwalawe oluvannyuma lw’okubeetegereza n’abalaba nga bali mu kutya okungi kwe bamazeemu wiiki ssatu bukya bbomu zikubwa mu Lubiri.

Omukutu guno gwagasseeko nti waliwo enteekateeka ez’okubasengula ku kazinga kano batwalibwe mu kifo ekirala ekitannamanyika ate omukutu gw’amawulire ogwa Daily Telegraph ne gugattako nti Tunisia bagikozesezza ng’oluguudo olunaabatuusa mu nsi ekyakuumiddwa nga ya kyama, gye basobola okwekukuma ne batatuusibwako buzibu bwonna.  

Akazinga k’e Djerba we bali, kwe kukuumirwa n’abanoonyi b’obubudamu era ab’ebyokwerinda mu Tunisia baategeezezza nti Safia ne Aisha batwalibwa ng’abanoonyi b’obubudamu abalala.
Wabula gavumenti ya Libya ng’eyita mu Minisita w’ensonga z’ebweru Khaled Kaim yavuddeyo mangu n’ebisambajja era Khaled n’agamba nti; “Bombi bakyali mu ggwanga lyaffe (Libya) era bali mu mbeera nnungi. Bali mu kibuga Tripoli era ebyogerwa nti baatoloseddwa ne bayingizibwa mu Tunisia tuzitwala nti ng’ambo ezitaliiko mutwe na magulu”.

Aisha Gaddafi 35, munnamateeka era mu 2004 yeegatta ku kibinja kya balooya abaali bawolereza eyali Pulezidenti wa Iraq Saddam Hussein okumutaasa akalabba, kyokka ne kitasoboka.
Omukutu gwa Al Arabiya gwategeezezza eggulo nti ne mutabani wa Gaddafi omukulu Muhammed Muammar Gaddafi naye yabadde avudde mu Libya nti nga naye agenze Tunisia.

Muhammed yategeezezza gavumenti ya Tunisia, nti yabadde agenzeeyo kufuna bujjanjabi. Abakungu bangi mu gavumenti ya Gaddafi badduse mu Libya era abasinga nga bayitira Tunisia; kuliko Minisita w’ebyamafuta Sokhri Ghanem, ow’ensonga z’ebweru Moussa Koussa, amyuka akulira bambega Abdallah Mahmoud. 

Abalala baasaze eddiiro ne beegatta ku bayeekera okuli  Minisita w’ensonga z’omunda  Abdel-Fatah Younes al-Obeidi, ow’ebyamateeka Mustafa Abdul Jalil kw’ossa ne Ali Abdussalam el-Treki.

Gaddafi addusizza mukazi we ne muwala we ekibabu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?