TOP

Kamanda wa Gaddafi bamusse

Added 18th May 2011

Col. Milad Hussein al-Fiqhi  yattiddwa mu lulumba  lw’ ennyonyi za NATO bwe zaakoze ku nfo z’amagye ga Libya mu kibuga Tripoli ku Ssande.

Televizoni ya Libya n’ekitongole ky’amawulire byategeezezza nti  Col. Hussein era abadde ayogerera amagye ga gaddafi

Col. Milad Hussein al-Fiqhi  yattiddwa mu lulumba  lw’ ennyonyi za NATO bwe zaakoze ku nfo z’amagye ga Libya mu kibuga Tripoli ku Ssande.

Televizoni ya Libya n’ekitongole ky’amawulire byategeezezza nti  Col. Hussein era abadde ayogerera amagye ga gaddafi yattiddwa  n’abantu baabulijjo abawerako.

Hussein  abadde omu ku basajja ba Gaddafi abakambwe  ababadde batulugunya n’okutta abamuwakanya era nti  effujjo lye yasembyeyo okukola lyabadde mu kibuga  ky’e  Zawiyah  bwe yagenzeeyo okukkakkanya abeewaguzi.

Hussein yeegasse ku mutabani wa Gaddafi Saif al Arab okuba mu bakulu mu gavumenti ya Gaddafi abattiddwa bbomu za NATO.

NATO eyongedde amaanyi mu nnumba zaayo nga ku Lwokubiri ennyonyi zaayo zaasudde bbomu ku Tripoli  okumala essaawa ssatu nnamba. Ennyonyi za NATO ennwanyi zaakazinda Libya enfunda  6,661  ne zisuula bbomu  2,608.

NATO  yagambye nti mu nnumba ze baakoze ku Lwokusatu mwabaddemu ennyonyi zaayo okulumba ebifo ebyetoolodde Tripoli mwe baakubidde ttanka z’amagye bbiri, ebimotoka ebitambuza abajaasi, emizinga egikuba ennyonyi ebiri wamu n’ebyuma ebiketta ennyonyi.

GADDAFI AKUBYE ABAYEEKERA N’AYINGIRA NE TUNISIA  
Aba NATO bwe baamaze okumufuntula mu Tripoli  Gaddafi essungu yalimalidde ku bayeekera ababadde baawamba awasalirwa okuva e Libya okuyingira e Tunisia n’abakubamu ebikompola  ebyasse n’okulumya abamu.

Okulwana  kuno kwabadde  mu kabuga k’e Dehiba Wazin okwafiiriddemu abayeekera bangiko era abamawulire baabadde baakabalako emirambo nga 18.

Aba Gaddafi bakira bakozesa emizinga  egy’ekika kya ‘Grad missiles’ enkola y’Ekirussia era egimu ku gyo gyagudde mu kitundu kya Tunisia ekyawalirizza Gavumenti ya Tunisia okutiisa okwekubira enduulu. Yagambye nti ebikompola 20 bye byagudde ku ttaka lyayo.

Mu malwaliro ga Tunisia agaliraanye ensalo abayeekera abafunye ebisago gye baatwaliddwa okufuna obujjanjabi.
Bbo abayeekera abali mu nsozi z’e Nafusa mu bugwanjuba bwa Libya nabo balaajanidde NATO esindike ennyonyi zikube basajja ba Gaddafi ababali obubi nga babanyugunyamu ebikompola.

E MISRATA ESSASI LISEKA
Abayeekera n’abamagye ga Gaddafi bukyabeefuka mu kibuga Misrata abayeekera kye baawambye kumpi kyonna era olutalo kafungulankette luli kumpi n’ekisaawe ky’ennyonyi basajja ba Gaddafi kye bagezaako okwezza.

Ebitongole by’amawulire omuli ekya Reuters ne BBC byategeezezza nti okulwana kuno kwafiiriddemu abantu bangi ababulijjo olw’ebikompola abajaasi ba Gaddafi bye bakuba awatali kufaayo oba bigwa ku mayumba g’abantu baabulijjo, obutale oba malwaliro.

CANADA EGOBYE

Gavumenti ya Canada efuumudde  abakungu ba Libya 10 okuva mu ggwanga eryo ng’egamba nti ebadde yeekengedde enneeyisa zaabwe.

Kyategeezeddwa nti Canada eggulo abakungu bano ababadde batuula ku kitebe kya Libya mu ggwanga lino lwe yabibasibidde ku nnyindo n’ebalagira okulyamuka amangu.

Canada yeemu ku mawanga agaweereza ennyonyi n’ebyokulwanyisa ebirala bikozesebwe NATO okusesebbula Col. Gaddafi ave mu buyinza.

EBY’OKUKUBA EMMEERI NATO EBIGAANYI
NATO egambye nti ebya Libya bye yeewaanye ku ttivvi yaayo nti yakubye emmeeri zaabwe ezaabadde zisemberedde e Misrata bya bulimba kubanga Libya terina mizinga gisobola kukuba mmeeri za NATO.

Kyokka NATTO yagambye nti erina akaato ke yasaanyizzaawo akaabadde kajjuziddwa bbomu nga basajja ba Gaddafi bakateze emmeeri ezigenda okugoba e Misrata kabwatuke kazisaanyeewo.

OWA GADDAFI OMULALA ADDUSE
Oluvannyuma lwa Minisita wa Gaddafi ow’amafuta, Choukri Ghanem  okusala ensalo n’addukira mu Tunisia  omukungu we abadde amyuka akulira bambega  Abdallah Mahmoud al-Hijazi naye  yasaze ensalo e Ras Jedir n’ayingira Tunisia.

Okudduka kw’abakungu bano kujja kunafuya nnyo Gavumenti ya Gaddafi era basuubirwa okusunira ku Gaddafi ku byama omuli n’empuku Gaddafi mwe yeekukumye n’abooluganda lwe.

Kyokka omwogezi wa Gaddafi, Moussa Ibrahim yagambye nti eby’okudduka kwa Ghanem ne al-Hijjazi bya bulimba era bali mu Tripoli baddukanya mirimu gyabwe.

 

 

 

Kamanda wa Gaddafi bamusse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...