TOP

Komando wa Pakistan avuddeyo asikire Bin Laden

Added 11th May 2011

Nga tannafuuka mutujju, Ilyas yali komando mu ggye lya Special Services Group ery’omu Pakistan era nga banne bamutya olw’obumalirivu bwe yalina nga bali ku misoni.

Yadduka mu magye ago n’atandikawo ekibiina eky’abatujjju ekigambibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obutujju munda mu Pakistan

Nga tannafuuka mutujju, Ilyas yali komando mu ggye lya Special Services Group ery’omu Pakistan era nga banne bamutya olw’obumalirivu bwe yalina nga bali ku misoni.

Yadduka mu magye ago n’atandikawo ekibiina eky’abatujjju ekigambibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obutujju munda mu Pakistan n’ebweru naddala mu Buyindi.

Ilyas ategeezezza ku mukutu gwa ‘yintanenti’ ogw’ekibiina kye nti mwetegefu okutwala mu maaso emirimu gya bin Laden kubanga babadde bakolera wamu ebbanga ddene.

Omukambwe ono asuubirwa okuvuganya n’abantu abalala nga musanvu abasuubirwa okulondebwako omukulembeze wa al Qaeda. Be bano;
* Ayman al-Zawahri
* Abu Yahya al-Libi
* Saif al-Adel
* Anwar Al-Awlaki                 
* Saad Bin Laden
* Omar Bin Laden,
* Nasser Al-Wahayshi
‘AMERIKA TUJJA KUGIWAABIRA’
Mutabani wa bin Laden, ayitibwa Omar Bin Laden, aludde nga tawagira bikolwa bya kitaawe eby’ekitujju, agamba nti alina n’enteekateeka ey’okuwawaabira Amerika olw’okutemula kitaabwe.

Omar nga ye mutabani wa Osama bin Laden owokuna yagambye nti okuttibwa kwa kitaawe kikolwa ekimenya amateeka era amaze okufuna bannamateeka okuwawaabira Amerika.

Omar era yasabye ne Pakistan okuyimbula mangu bannamwandu ba bin Laden n’abaana abaasangiddwa mu nnyumba mwe yattiddwa.
OSAMA YALI YAFA DDA- IRAN GAVUMENTI ya Iran egambye nti balina obukakafu nti Bin Laden yali yeefiira dda endwadde ze nga Amerika temanyi.

Minisita wa Iran ow’ebyobukessi, Heyder Moslehi yagambye bin Laden yali yafa obulwadde bw’ensigo nga Amerika temanyi era bwe yategedde kwe kutegekawo akazannyo okwefuula abamusse.

Wabula bino binkotana n’ebyafulumiziddwa aba al- Qaeda mu Pakistan, ne Iraq abaakakasizza nti mukama waabwe yattiddwa mu lulumba Amerika lwe yakoze ku maka ge e Abbottabad.

Omuduumizi w’ekibiina kya Jamaat-e-Islami, Sheikh Syed Munawar Hasan, yategeezezza nti Bin Laden okuttibwa, kyava mu bulagajjavu bw’abakuumi be abaali beebase mu kiseera bakomando ba Amerika we baalumbira amaka ge.

OWA AL QAEDA ALABUDDE
Ate omukulembeze w’ekibiina kya al Qaeda mu Yemen agambye nti okuttibwa kwa mukama waabwe Bin Laden tekulina kinene kye kijja kukyusa ku nnumba ze bakola ku Bakafaairi.

“Tujja kubalwanyisa tuveewo, abaana baffe babalwanyise n’abazzukulu okutuusa lwe banaakongoka. Olutalo lwaffe nammwe lwali terukulemberwa Osama yekka,” Nasser al- Wuhayshi bwe yagambye ku mukutu gwa As-Ansar ku yintanenti.

Nasser al-Wuhayshi y’akulembera ettabi lya al Qaeda eriri mu mawanga ga Buwalabu nga liyitibwa Al Qaeda in the Arabian Peninsula (AQAP).

Komando wa Pakistan avuddeyo asikire Bin Laden

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...