Amerika eyabadde yalangirira nti yava mu lutalo ate yakomezzaawo ennyonyi zaayo eziketta eza ‘drones’ eziriko n’emizinga egisobola obulungi okukuba mu bifo ebifunda ennyonyi ennywanyi endala we zaandibadde zirumya abantu baabulijjo.
Minisita wa Bungereza owebyokwerinda  Liam Fox yawadde Gaddafi amagezi agasembayo ave mangu mu buyinza oba sikyo mufu kubanga kati okusaaga kukomye.
Fox yategeezezza nti, “Gaddafi bw’aba agaanidde mu buyinza tewali nsonga lwaki aba NATO beemalira obudde nga bawoza “tumumaleko ebyokulwanyisa byalina asobole okuvaako.â€
Eggulo Fox yayolekedde Washington ekya Amerika okutokota mukulu munne bwe bafanaanya emirimu Robert Gates okukola pulaani enkukutivu egenda okuggya Gaddafi mu nsi eno.
Ebitongole by’amawulire omwabadde ne Daily Telegraph byategeezezza nti Fox eyasoose okulayira nti “Gaddafi vva mu buyinza oba sikyo tugenda kukuttaâ€, yagambye nti mu lukiiko lwe yagenzemu mu Amerika yabadde agenda kwanjiza ddala ensonga y’okussa Col Gaddafi ku bantu NATO beetekeddwa okutta Libya bw’ebeera ya kutereera.
GADDAFI NAYE AWERA
OMU ku batabani ba Gaddafi ategeezezza nti Gaddafi eby’okumutiisa okumutta tabitidde tajja kuwanika ali mu Tripoli yeekolera mirimu gye.
Saif al-Islam yategeezezza nti bbomu za NATO ze yakubye mu ddiiro lya Gaddafi ng’erowooza nti mwali zaagifudde busa kubanga Gaddafi amoga era waali si we wangu okumnala gamutuukako n’olwekyo batwale eri.
Yagambye nti Col Gaddafi yeeyongedde maanyi na busungu ku balumbaganyi era abannyunnyunsi abazze okutabangula Libya.
Gavumenti ya Gadaffi yategeezezza nti abantu abasoba mu 45 be batuusiddwaako ebisago mu bbomu za NATO ku nkomerero ya wikendi kyokka tebabalaze bamawulire nga bwe babadde batera okukola.
BALEETA EKITEESO
AMERIKA, Bungereza ne Bufalansa zitegeka kuleeta kiteeso ekikkiriza amagye ga NATO ag’oku ttaka okuzinda Libya gawambe Gaddafi kyokka Russia erabudde okusimbira ekkuuli ekiteeso kino.
Minisita wa Russia ow’ensonga Ezebweru Sergie Lavrov yategeezezza nti ekiteeso ekirala kyonna ekinaanyisibwa UN nga kigenderera okutwala olutalo lw’omu Libya mu maaso , Russia ejja kukigaana.
Ab’omukago okuleeta ekiteeso kino kiddiridde okukuba enfo za Gaddafi nga basinziira mu bbanga kyokka nga balaba tebakosezza nnyo magye ge.
Russia y’emu ku mawanga ga kirimaanyi agalina ebifo ebyenkalakkalira ku kakiiko kano ng’amalala ye Amerika, Bungereza, Bufaransa ne China. Buli ggwanga ku mawanga gano lirina obuyinza okugaana ekiteeso ekiba kiyisiddwa UN era bwe ligaana , ekiteeso tekissibwa mu nkola.
E MISRATA EMMUNDU ETOKOTA
WADDE amagye ga Gaddafi agamu gaagumbulukuse mu nfo zaago  wakati mu kibuga Misrata, eggulo gaasibye gawandagaza ebikompola mu kibuga kino ne ku mwalo oguli mu mikono gy’abayeekera.Â
Abayeekera baabadde balumbye n’amaanyi nga bakozesa emmundu ezisibiddwa ku mmotoka , ttanka n’abalala nga basonga okuva mu kava zabwe basobole okwongera okuwamba ebitundu ebirimu aba Gaddafi kyokka n’aba Gaddafi baabadde bakyerwanako.
Kyokka mu Misrata wakati, embeera yabadde nsirifu ng’abayeekera bali mu kukonga ntegeka zikubira ddala magye ga Gaddafi.
Ku Mmande ennyonyi za NATO zaayambye abayeekera bwe zaakubye amagye ga Gaddafi agabadde gapanze ebyokulwanyisa okumpi n’ekibuga kino nga gategeka kubanganga.
AMAFUTA GABUZE MU TRIPOLI
AMAFUTA g’emmotoka gafuuse ga kkekkwa mu kibuga kya Libya ekilulu Tripoli era nga ku masundiro agamu layini ziweza obuwanvu bwa kilomita 5.
Libya wadde ggwanga erisima amafuta naye enzizi zaago ezisinga zikubiddwa abayeekera ate eziri mu bitundu ebiri mu mikono gy’abayeekera ne Gaddafi n’azookya.
Abayeekera baakola dda endagaano ne Qatar era nga baatandika okutunda amafuta okugayisa ku mwalo gw’e Benghazi sso nga Gaddafi ye takkirizibwa.
 Â
YITALE EREESE ENNYONYIÂ
KATIKKIRO wa Yitale Silvio Berlusconi akkirizza ennyonyi z’eggwanga lye ennwanyi okutandika okutimpula amagye ga Col Gaddafi n’enfo z’ebyokulwanyisa obuteddiza batere bamumale amaanyi agenede.
Yakubidde mukulu munne Barack Obama n’amwanjulira amawulire ago nti Yitale nayo esazeewo okuwagira aba NATO mu kukuba Col Gaddafi.
Ku nnyonyi Yitale kweyongedde ttanka ezitambulira ku nnyanja ne ku ttanka ezaatandise edda okuva ku mmeeri zaayo ennwanyi nga ziyingira emyalo gya Yitale.
Amagye ga Yitale ag’omu bbanga galina ennyonyi ezisoba mu 500 kyokka nga muno mulimu ennwanyi, ennetissi n’enkessi.
Aba NATO bakubye Gaddafi bubi nnyo