TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Museveni adduukiridde abantu abaalumiziddwa mu kwekalakaasa

Museveni adduukiridde abantu abaalumiziddwa mu kwekalakaasa

Added 25th April 2011

Yennyamidde okubeera nti obwegugungo bwakosa bassaalumanya n’ategeeza nti tewali kyali kyetaagisa kwekalakaasa n’alabula okukangavvula abo bonna abeetaba mu bwegugungo buno nti omukono gw’amateeka omuwanvu gugenda kubakolako.

Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse omuwabuzi w

Yennyamidde okubeera nti obwegugungo bwakosa bassaalumanya n’ategeeza nti tewali kyali kyetaagisa kwekalakaasa n’alabula okukangavvula abo bonna abeetaba mu bwegugungo buno nti omukono gw’amateeka omuwanvu gugenda kubakolako.

Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse omuwabuzi we, Col. Proscovia Nalweyiso gwe yatisse obuyambi n’abutuusa ku balwadde abali mu ddwaliro e Mulago eggulo.

Col. Nalweyiso, okutuuka e Mulago yakulembeddwaamu omwogezi wa poliisi Muky. Judith Nabakooba, era yategeezezza abalwadde nti Pulezidenti alumirirwa wamu nabo kubanga tawagira kwekalakaasa okumenya amateeka. ""Abasuubizza nti ajja kubafissizaawo akadde ajje abalabeko,"" bwatyo bwe yabategeezezza.

Abalwadde be yatuuseeko kwabaddeko: Godfrey Kabokeka eyakubwa essasi mu mugongo e Kasangati, Brend Nalwendo ow’e Busega, Godfrey Makama ne Gerald Kato eyatudde S6 omwaka oguwedde ow’e Bweyogerere Kirinnya, bano yabasulidde n’ebisale by’eddwaliro.

Olwavudde eno Nalweyiso n’agenda okukubagiza bazadde ba Julian Nalwanga ow’emyaka ebiri n’ekitundu eyakubiddwa essasi n’ayiika obwongo e Masaka wiiki ewedde. Pulezidenti yasuubizza okuyamba abo bonna abaatuusibwako ebisago mu bwegugungo obwakulemberwa ab’oludda oluvuganya gavumenti mu Kampala n’ebitundu ebirala mu ggwanga olwemiwendo gy’emmere n’amafuta okulinnya.

Lipoota ya banka y’ensi yonna eyafuluma nga April 14 eraga nti obuzibu buvudde ku nsi za Buwalabu ezibadde zitugabirira amafuta okufuna ebizibu ng’entalo ate emiwendo gy’emmere egyongedde okulinnya ebitundu 36 ku kikumi mu kiseera kya mwaka gumu gwokka.

Gyebuvuddeko pulezidenti Museven yanenyezza Kiiza Besigye ne banne okutwala obwegugungo mu malwaliro, amasomero n’ebifo by’obusuubuzi mu ngeri egenderere okulumya abantu.

, okubafiiriza ebintu byabwe n’obulamu.

Museveni adduukiridde abantu abaalumiziddwa mu kwekalakaasa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....