Amayitire ga Gaddafi gaabadde teganamanyibwa eggulo kyokka ensonda mu byokwerinda kwa Libya zaategeezezza nti mu kiseera ennyonyi we zaakubidde olubiri luno olw’e Bab al-Azizya olusangibwa mu kibuga Tripoli ng’ayolekedde ekisaawe ky’ennyonyi eky’e Tripoli kyokka nga tekimanyiddwa wag ye yabadde agenda.
Guno gwe mulundi ogwokuna ng’ennyonyi zikuba olubiri luno. Ogwasooka gwaliwo mu 1986, ne ziddamu mu March w’omwaka guno gattako mu kiro ekyakeesezza Paasika n’ekyakeesezza Easter Mmande.
Ebitongole by’amawulire byategeezezza nti bbomu ezaakozeseddwa ku luno zibadde tezinawulirwa mu Tripoli olw’amaanyi gaazo agakankanyizza n’ebizimbe. n’okutataaganya ebyempuliziganya era tivvi ne leediyo zaavuddeko okumala eddakiia 35.
Ate zo ennyonyi za Amerika enkessi eza ‘drones’ kyokka nga ziwangiddwaako n’emizinga zaasaanyizaawo emmundu ya Gaddafi gy’abadde yeesiga ennyo eyitibwa SA-8 Gecko.
Ekimu ku bizimbe ebyakubidwa mwe mubadde ekisenge omusomerwa ebitabo n’ekisenge omuteesezebwa era nga Gaddafi mwe yasisinkanira Pulezidenti Jacob Zuma owa South Afrika n’abakungu ba AU abalala gye buvuddeko nga bagenze okulaba engeri gye bayinza okutabaganamu n’abayeekera.
Kyokka omwogezi wa gavumenti ya Libya, Mussa Ibrahim yagambye nti Gaddafi gy’ali mulamu wadde ng’aba NATO babadde bagezaako okumutemula.
Ekizimbe kino abawagizi ba Gaddafi buli kiro babadde bakung’aanirako waggulu okutangira ennyonyi za NATO okukisesembula nga kwe bali.
 E MISRATA BALWANA
Amagye ga Gaddafi agabadde gagumaazizza abayeekera nti gayimirizza ku byokulwana  mu kibuga ky’e Misrata gaasitudde buto enkundi okuva ku Paasika ne gaddamu okugwisa obwenyi n’abayeekera mu lutalo olwafiiridde abantu absoba mu 23.
Amagye ga Gaddafi gaagudde ekifuyiifu ku bayeekera abaabadde bajaganya olw’okuwamba ekizimbe ekisinga obuwanvu ne babattamu abawera. Kyokka n’abayeekera engabo bagirumizza mannyo nga kati beetoolodde basajja ba Gaddafi ebweru w’ekibuga nga tebakyalina we bayisa mmere, ddagala oba okutwala bannaabwe ababa balumiziddwa mu amalwaliro n’okufuna ebyeyambisibwa mu mmundu zaabwe.
Bbo abayeekera bakyefuze omwalo gw’e Misrata era nga kino kye kimu ku kikyabafudde abazibu okulinnya kunfeete kuba bayingirizaako ebyokulwanyisa n’okutwala abalwadde baabwe e Benghazi okujjanjabwa.
Omu ku bajaasi ba Col Gaddafi eyawambiddwa  Ali Misbah  yategeezezza abamawulire nti  bangi ku bajaasi ba gavumenti e Misrata amaanyi gabawedde era baagala okuwanika kyokka batya nti abayeekera bajja kubatungumbula.
   Â
ABAYEEKERAÂ BAGUDDE MU KAVU
Bibadde bikyali bityo ate abayeekera Col Gaddafi  ne bagwa mu kavu gavumenti ya Kuwait bwe bawadde omusimbi bongere okwetereeza.
Kuwait yalangiridde ku lunaku lwa Paasika nti abayeekera ebawadde Ddoola obukadde 180 (ze za Uganda obuwumbi nga 430) zibayambe mu kugula ebyokulwanyisa.
We bafunidde ssente zino nga n’amawanga nga Qatar nago gaatandika dda okubayamba mu ssente n’ebintu ebirala era ga babatongozza dda ng’abafuzi ba Libya abatuufu.
‘GADDAFI  ABULAMU ENKUBA EZ’OMUTAWAANA’
Abakakiiko k’ebyokwerinda  ku lukiiko lwa Senate mu Amerika bategeezezza nti NATO Gaddafi ekyamukubya kisa nti bwe gutaba gutyo singa gamuggwa dda.
Baagambye nti Gaddafi yeetaaga okukuba bbomu ez’okumukumu ne basajja be nga buli lw’azuukuka yeewunya kiki kiddako atuuke n’okwebuuza ng’enkoko y’omutamiivu nti “ekiro kya leero nkeesa?â€
Omukiise Sen Lindsey Graham yasinzidde mu kibuga Washington ku Paasika ne banne babiri bwe batuula ku lukiiko lwa Senate nga bonna ba mmemba bakibiina ekivuganya ekya Republican ne bagamba nti Gaddafi tagwana kukwasa kisa.
EBIKWATA KU MMUNDU SA-8 GECKO
EMMUNDU ya Gaddafi eyasaanyizzzaawo mu lulumba olwakoleddwa NATO mu kiro ekyakeesezza eggulo eyitibwa SA-8 Gecko nga nkola y’Abarussia.
Emmundu eno omulimu gwayo omukulu kukuba nnyonyi era ng’erkiko n’ebyuma ebiketta ennyonyi ng’ekyali walako n’etunuza emizinga gyayo ku ludda ennyonyi eno gy’eva.
Ebyembi eri Gaddafi, ennyonyi z’abomukago za tekinologiya wa waggulu nga zirina obuuma obuzaabuza emmundu ezikuba ennyonyi nga tezisobola kumanyiira ddala ludda we zigenda kufubutukira oluusi n’obutaziwulira.
Kyokka esobola bulungi okukuba ennyonyi za nnamunkanga era gye buvuddeko amagye ga Gaddafi bwe gaakubye nnamunkanga z’abayeekera zaakozesezza mmundu eno.
Mu mawanga ga Afrika agalina ekyokulwanyisa kino ng’oggyeeko Libya mulimu South Afrika ne Algeria zokka.
Esobola okukuba ennyonyi eri mu kiromita 35 ate ng’omuzinga oguggyisibwako guzitowa kkiro 126 nga guwenyuka emisinde gya kilomita 80 buli ssaawa.
Eddiiro lya Gaddafi lisesebuddwa