TOP

20 battiddwa mu kulwana mu Libya

Added 22nd April 2011

Abayeekera balabika baakozesezza obukodyo obwalagiriddwa bakomando ba Bungereza ne Bufalansa  abaatuuse edda mu kibuga Benghazi.

Wadde ng’amagye ga Gaddafi geebunguludde Misrata abayeekera be bafuga munda waakyo wamu n’omwalo mwe bayisa ebyokulwanyisa wamu n’abantu baabwe abaluimiziddwa ok

Abayeekera balabika baakozesezza obukodyo obwalagiriddwa bakomando ba Bungereza ne Bufalansa  abaatuuse edda mu kibuga Benghazi.

Wadde ng’amagye ga Gaddafi geebunguludde Misrata abayeekera be bafuga munda waakyo wamu n’omwalo mwe bayisa ebyokulwanyisa wamu n’abantu baabwe abaluimiziddwa okubatwala e Benghazi okujjabibwa.

Eggulo abayeekera baalumaze beenywezza mu nfo ezibaddemu aba Gaddafi naddala ebizimbe ebiwanvu basajja ba Gaddafi kwe bateeze n’emmundu eziriko ebitangaaza nga bakuba buli kiramu kye balaba kitambula wansi obutataliza mbwa wadde kkapa.

Kyokka  omwogezi wa gavumenti  ya Libya, Moussa Ibrahim yalabudde abayeekera obuteeyibala nti ekibuga bakitutte nti kubanga amagye ga Gaddafi ge gasinzaako ekitundu ekinene era  essaawa yonna omuliro guddamu okwaka.

 AMERIKA EWEEREZZA ENNYONYI ENKESSI

Amerika bwerabye basajja ba Col. Gaddafi bafunze ekyonga kwe kusindika ennyonyi zaayo enkessi ezaakazibwako erya ‘drones’ zongere okuketta enfo ezirimu ebyokulwanyisa zisaanyizibwewo ennyonyi za NATO.

Minisita wa Amerika owebyokwerinda,  Robert Gates yategeezezza nti pulezidenti  Barack Obama akkiriza ennyonyi  zino okutwalibwa mu Libya.

Ennyonyi zino Amerika ebadde ezikozesa ne mu lutalo lwa Iraq ne Afaghanistan. Wadde tezivugibwa muntu naye ziwangiddwako emizinga n’ebikompola ebiwewufu nga zisobola bulungi nazo okukuba ekifo kyokka bwe kiba kyetaagisa ebyokulwanyisa eby’amaanyi okusingawo olwo basindika ennyonyi endala nga zi B 2 Stealth Bombers ne zikikuba. 

Zasooseyo bbiri mu ddwaniro kyokka ate embeera y’obudde embi mu Libya n’etazitawaanya.

EBIKWATA KU NNYONYI ‘DRONES’

ENNYONYI  ezevuga zokka Amerika zeesindise okukuba  Gaddafi  ezimanyiddwa mu lulimi olwabulijjo nga ‘drones’  kyokka mu lulimi lw’ekijaasi ziyitibwa   UAVs (Unmanned Aerial Vehicles) oba  RPAS (Remotely Piloted Aerial Systems).

Zirimu ebika bibiri okuli MQ-1B Predator ne MQ-9 Reaper nga mu kiseera kino Amerika ezikozesa mu Afghanistan ne Pakistan mu lutalo lw’erimu n’Abatalebaani wamu ne bannalukalala b’akabiina ka al Qeada akaduumirwa Osama bin Laden.

Drone esobola okukola emirimu omuli okuwuliriza emboozi z’abogerera ku ssimu, okuketta omulabe kyonna ky’akola, okuwunyiriza bbomu ezitegeddwa mu ttaka n’okusaanyawo enfo z’omulabe eziteetaaga byakulwanyisa bizito nnyo.

Ziriko kamera era zitambula bwe zikuba ebifaananyi ne zibiweereza abaii mu offisi. Drone esobola okumala mu bwengula essaawa 17 nga tekomyewo kunywa mafuta era wadde tebaamu mugoba naye zirina abagoba abatendeke nga bazivugira ku kompyuta.

Bw’ebeera ku mulimu omugoba ono teyeebaka era buli kifaananyi ky’eweereza akyekkaanya n’abuulira  bakamabe ekizuuliddwa. Eziri mu Afaghanistan abazivuga basinziira ku kitebe ky’amagye ga Amerika mu ddungu ly’e Nevada.

Ezikozesebwa Abamerika za sayizi za njawulo ng’obumu butono ddala oyinza okukwata mu ngalo kyokka ng’endala nnene ddala kumpi kwenkana nnyonyi nnwanyi.Drone ennene esobola okwetikka omuzinga gwa Hellfire oba bbomu ziyiikuula empuku nga  Paveway II ne GBU-12.

Ennyonyi eno esobola okuwenyuka kilomita 370 buli ssaawa. Zikolebwa kkampuni ya  General Atomics Aeronautical Systems. Mu 1994 lwe zaasooka okubuusibwa. Egula  Doola za Amerika obukadde buna (mu za Uganda obuwumbi nga butaano).

Zirimu “sensa”, ttivi eza langi n’ezitali, ebyuma ebiziyiza ennyonyi z’omulabe okuzikuba, ebitangaaza ebiyita ne mu nzikiza okuzuula ebikwekeddwa ebuziizi gatako  emizinga ne bbomu .

MUJA KUGWA KU KYOKYA-GADDAFI
Col Muammar Gaddafi ayongedde okulabula aba NATO ne bannaabwe Abamerika, Abafalansa n’Abangereza nti bwe kabatanda ne baleeta amagye  g’oku ttaka ayabaalula enaaba esiridde.

Omwogezi wa Gaddafi,   Moussa Ibrahim   yategeezezza nti abaagala okumanya nti Col Gaddafi yalya ennumba n’abajaasi be balinde amagye amagwira gasonge ku ttaka lya Libya .

20 battiddwa mu kulwana mu Libya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....