Oksana yategeezezza akatabo ka News Week akafulumira mu Amerika nti kasita yakwata ku mutima gwa Col Gaddafi ensi n’emuta era byalidde abiridde.
Yamusisinkana wa myaka 21 ng’anyirira nga kinya olwo Col Gaddafi n’amusembeza.
Anyumya nti mu kusooka Gaddafi yali atya mukaziwe omukulu Safia okubagwamu nti kyokka ekiseera kyatuuka nga Gaddafi takyabitya nga mu mbiri ze amuyingiza kyere.
Oluusi Oksana yeesibiranga mu kisenge ne mukamawe nga beekwasa nti alina by’amujjanjaba kyokka nga bali mu mukwano.
Oksana kati ali lubuto lwa myezi mukaaga kyokka bwe yabuuziddwa oba lwa Gaddafi yagaanyi okukyanukula ng’agamba nti kino kyama kye.
Omuninkini wa Gaddafi ali lubuto