TOP

Batudde e Bungereza okuteesa ku Libya

Added 29th March 2011

Bungereza ne Yitale ge mawanga agazze n’ekiteeso ky’okuwa Col. Muammar Gaddafi owa Libya obubudamu ne galabula nti bw’ataakikole olutalo lwakugenda mu maaso era ebiddirira biyinza obutabeera birungi eri Gaddafi ne famire ye.

Minisita wa Bungereza akola ku nsonga z’ebweru, William Hague ya

Bungereza ne Yitale ge mawanga agazze n’ekiteeso ky’okuwa Col. Muammar Gaddafi owa Libya obubudamu ne galabula nti bw’ataakikole olutalo lwakugenda mu maaso era ebiddirira biyinza obutabeera birungi eri Gaddafi ne famire ye.

Minisita wa Bungereza akola ku nsonga z’ebweru, William Hague yagambye nti: Kiri eri Gaddafi okukkiriza akakisa ke tumuwadde ak’okuva mu Libya mu mirembe kuba bw’atakikola ayinza okutuusa ekiseera ne yejjusa ate nga bwayita dda!

Kyokka yataddemu akakwakkulizo nti okuwa Gaddafi obubudamu tekitegeeza nti tasobola kuggulwako misango mu kkooti y’ensi yonna.

Minisita wa Bufaransa oweby’okwerinda, Gerard Longuet yagambye nti kye baagala okulaba ye Gaddafi ng’ava mu buyinza nti kye kyokka ekijja okutaasa bannansi ba Libya baleme kufa.

Olukung’aana luno olwatudde e London mu Bungereza eggulo lwetabiddwaamu ne Minisita wa Amerika ow’ensonga z’ebweru Hillary Clinton, abakulembeze b’abayeekera okuva mu Libya, saabawandiisi w’olukiiko lw’amawanga amagatte Ban Ki-moon, omukulembeze wa NATO ne Baminisita b’ensonga ez’ebweru okuva mu mawanga ga Afrika n’Abawalabu.

Batudde e Bungereza okuteesa ku Libya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Omuwendo gw'abaana abakabas...

  EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera...

Kalinge

Avunaaniddwa lwa kusaba sse...

OMUKOZI mu minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako omusango gw'okusaba...