TOP

Amateeka amakakali ku kulonda

Added 13th March 2011

Mu biragiro bino, abalonzi bagaaniddwa okutambulira mu bibinja era ne takisi ezisomba abantu abeeyita abakuumi b’obululu nga zigenda zibayiwa mu bifo awalonderwa nazo ziwereddwa.

Bakanyama bagaaniddwa ku bifo ebironderwamu era poliisi eweereddwa ekiragiro okukwata kanyama yenna anaasembera mu k

Mu biragiro bino, abalonzi bagaaniddwa okutambulira mu bibinja era ne takisi ezisomba abantu abeeyita abakuumi b’obululu nga zigenda zibayiwa mu bifo awalonderwa nazo ziwereddwa.

Bakanyama bagaaniddwa ku bifo ebironderwamu era poliisi eweereddwa ekiragiro okukwata kanyama yenna anaasembera mu kifo awalonderwa n’asukka mu mmita 100.

Abawagizi b’abeesimbyewo bagaaniddwa okukwata be bateebereza okuba ababbi b’obululu wabula bategeeze poliisi y’eba ebakwata nti kireme okutaataaganya bujulizi.

Mu biragiro ebirala ebyayisiddwa mulimu ekya buli yeesimbyewo okukkirizibwa ba ajenti babiri bokka ku buli kifo ekironderwamu nga bano be balina okulondoola obululu bwe.

Ku mulundi guno, bannamawulire nabo bagaaniddwa okutuuka awalonderwa okukuba ebifaananyi, ne balagirwa okuyimirira mu mmita 100 okuva awalonderwa.

Effujjo lyonna n’okuwoggana olw’ettamiiro biwereddwa mu kifo awalonderwa; era n’omuntu anaakwatibwa ng’akuyega abalonzi waakuggalirwa.

Amasundiro g’amafuta nago bagawadde ekiragiro obutatundira petulooli mu budomola ne mu buveera olw’okunyweza ebyokwerinda.    Ebiragiro bino byalangiriddwa akulira akakiiko k’ebyokulonda Ying. Badru Kiggundu eyabadde n’Omuduumizi wa Poliisi atwala ekitundu kya Kampala n’emiriraano Grace Turyagumanawe mu lukungaana lwa bannamawulire lwe baatuuziza eggulo ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala.

Abaserikale ba Poliisi bayiiriddwa ku buli zooni ne ku miruka okulondoola ebifo omuli ebbaala zonna awagambibwa nti wateekeddwaayo abavubuka ab’efujjo abeetegese okutabangula okulonda.

Gavumenti yalangiridde olwaleero nti lwa kuwummula mu Kampala abantu basobole okwetaba mu kulonda kuno.
Abeesimbyewo okuli Erias Lukwago (IND), Peter Ssematimba (NRM), Micheal Mabikke (SDP), n’abalala okuli Francis Babu, Emmanuel Tumusiime ne Sandra Ngabo beesunga buwanguzi kyokka kumpi buli omu alumiriza enkambi ya munne nti erina enteekateeka y’okubba obululu.

Kiggundu yagambye nti obululu bwakuggyibwa ku sitoowa z’akakiiko k’ebyokulonda e Bbanda mu Kampala ku ssaawa 11:00 ez’enkya nga buwerekerwa Poliisi wamu ne ba ajenti b’abeesimbyewo butwalibwe mu bifo awalonderwa ng’okulonda kulina kutandika ku ssaawa 1:00 yennyini kukomekkerezebwe ku 11:00 ez’akawungeezi.

Abantu baweereddwa nnamba ey’obwereere 0800200071 bagyeyambise okukubira akakiiko k’eby’okulonda nga bakawa amawulire agayinza okuyambako okukwata abagezaako okutabangula okulonda.

Omuduumizi wa poliisi Maj. Gen. Kale Kayihura yafulumizza ekiwandiiko eggulo ng’agumya bannakampala naddala abasuubuzi nti ebyokwerinda byakubeera gguluggulu.

Pulezidenti alabudde ab’effujjo:
Eggulo, Pulezidenti Museveni yawadde obubaka eri abalonzi ba Kampala n’alabula ab’effujjo ne bakanyama abalina enteekateeka y’okutabangula okulonda, nti ebitongole ebikuumaddembe biragiddwa okubakwata bavunaanibwe.

Yakunze abantu okujjumbira okulonda kuno n’agamba nti kukulu nnyo mu kutumbula embeera z’abantu mu Kampala era n’abasaba okukuuma emirembe n’okuyambako okuloopa abo bonna abalina enteekateeka ezikutabangula.

Amateeka amakakali ku kulonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...