Omukazi yagenze mu maaso n’amuwendulira poliisi eyawalirizza loole okudda ku poliisi olwo ebintu ne bigabanibwa.
Grace Nakavuma ne bba William Draru abatuuze b’e Namugongo Mbalwa be baagabanye ebintu. Nakavuma ali olubuto wa mpeta ne Draru era balina abaana babiri.
Kigambibwa nti Draru atutte ekiseera ng’avudde mu maka n’agalekamu Nakavuma olw’obutakkaanya bwe babadde nabwo okutuusa lwe yalabye ng’omukazi abeera amujooze kinene okusigaza enju n’ebintu.
Yamaliridde n’agera omukazi nga yeewunguddeko n’atikka ebintu byonna ng’ayambibwako baganda be ne bakanyama. Kigambibwa baabadde tebannasimbula ne wabaawo atemya ku Nakavuma eyazze ne poliisi.
Loole g’etuusiddwa ku poliisi ensonga zaatuuliddwaamu era ne kisalibwawo bagabane ebintu ebyo ku poliisi. Ebintu ebyagabaniddwa mwabaddemu emmeeza ya dayiningi n’entebe, amasefuliya, ebitanda, firiigi, entebe ne kalonda yenna akozesebwa mu nnyumba.
Oluvannyuma baatadde emikono ku ndagaano nga buli omu tewali alina kulumbagana munne gy’azze. Omukazi ye yasigazza amaka kyokka omwami n’atwala abaana.
Akulira ensonga z’amaka ku poliisi e Kira, Florence Abenakyo yavumiridde abafumbo okwanika obuzina bwabwe mu lujjudde.
   Â
Abafumbo batabuse ne bagabana ebintu by’omu nju ku poliisi