TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Obuwanguzi bwa Kasibante mu Lubaga North busaziddwamu

Obuwanguzi bwa Kasibante mu Lubaga North busaziddwamu

Added 28th February 2011

Obululu bwe bwazzeemu okubalibwa, Katongole yawangulidde ku 24,802 ate Kasibante n’afuna 22,850.
Ku bifo ebyalondeddwamu 141, obululu bw’ekifo kimu ekya Near KCC Lungujja bwabuze. Wano waliwo abalonzi 1,993.

Akulira ebyokulonda mu Kampala, Molly Mutazindwa yagambye nti ne bwe bwandibadde

Obululu bwe bwazzeemu okubalibwa, Katongole yawangulidde ku 24,802 ate Kasibante n’afuna 22,850.
Ku bifo ebyalondeddwamu 141, obululu bw’ekifo kimu ekya Near KCC Lungujja bwabuze. Wano waliwo abalonzi 1,993.

Akulira ebyokulonda mu Kampala, Molly Mutazindwa yagambye nti ne bwe bwandibadde bulabise, bwonna ne bwe bwandibadde bwa Kasibante era Katongole yandibadde awangudde.

“Katonda talya nguzi amazima gavuddeyo”, Katongole bwe yagambye ng’obululu bwakalangirirwa ng’essaawa zikunukkiriza 9 ez’ekiro ekikeesezza leero.

Okubala obululu kwakoleddwa mu kwerinda okw’amaanyi kyokka abooludda lwa Moses Kasibante baabadde tebaliiwo. Kasibante ne balooya be, Erias Lukwago ne Medard Ssegona baavudde ku kkooti nga bawakanya okusalawo kw’abaakakiiko k’ebyokulonda  be baawadde ekiragiro kya kkooti enkulu ekiyimiriza okubala obululu kyokka ne bagaana nga bagamba nti baabadde bamaze okusumulula obusanduuko.

Kasibante yawangula Katongole kyokka Katongole ne yeemulugunya mu kkooti eyalagidde okubala obululu kuddemu.
Okubala obululu kwawedde essaawa nga 4 ez’ekiro olwo ne batandika okugatta. Nga bamalirizza okugatta beesanze ng’obululu okuva mu bifo 14 omulondebwa tebuliiwo.

Bazzeemu ne batinkuula buto obusanduuko ne bazuula obululu kyokka obubokisi bubiri ne bubula.
Akulira ebyokulonda mu Kampala, Molly Mutazindwa yakubye essimu okwebuuza ku bakama be eky’okukola.

Yagambye nti okugaana okuyimiriza okubala obululu tekwabadde kujeemera kiragiro kya kkooti ekyakoleddwa omulamuzi Isac Muwana, wabula Ssegona okukiwa ye (Mutazindwa) yabadde nsobi kyabadde kirina kutwalibwa mu kitongole ky’ebyamateeka eky’akakiiko k’ebyokulonda.

 Poliisi n’amagye byayiiriddwa ku kkooti e Mengo olwokutangira abawagizi ba Moses Kasibante n’Omuyindi Singh Katongole okugwang’ana mu malaka  mu kuddamu okubala obululu bw’omubaka wa Lubaga North.

Bwabaliddwa mu kusika omuguwa ng’entabwe eva ku Kasibante kuleeta kiragiro kya kkooti ekiyimiriza eby’okububala kyokka kkooti y’e Mengo esangiddwa ng’etandise okubala n’egenda bugenzi mu maaso.

Okubala obululu kwatandise kikeerezi nnyo oluvannyuma lwa Kasibante ne balooya be okusooka okugenda mu kkooti Enkulu okusaba ekiragiro ekiyimiriza eby’okuddamu okubala.

Ku ssaawa nga 4.00 ez’oku makya Lukwago yatuuse ku kkooti kyokka n’asooka kubaako birala by’abuuza abakungu ba kkooti ekintu ekyaggye Katongole mu mbeera n’atandika okuwereekereza Lukwago ebigambo era katono bibabugume.

Bino byabadde ku kkooti kyokka ng’ebweru waayo poliisi n’abaserikale abalala bateevuunya nga munyeera. Abamu baabadde beesibye  enkoba, ng’abalala bambalidde emmundu ezikuba omukka ogubalagala era baabadde bulindaala n’ebimotoka byabwe ebyakazibwako erya Nyala n’emmotoka eziriko emizinga.

Omulamuzi Philip Odoki nga yaakatuuka mu kkooti ttiimu ya balooya ba Kasibante eyakuliddwa Lukwago baamutuukiridde  ne bamusaba  ayongezeeyo okuwa ensala ye ku by’asabwa Singh Katongole egamba nti Kasibante yamubba obululu ng’ayagala baddemu okububala.

Kyokka omulamuzi yagaanyi newankubadde nga yamutegeezezza nti omuntu we ekiragiro ekimuyita mu kkooti yakifunye ku Ssande olunaku kkooti lw’etekolerako era nga n’eyakimuwadde Ssaalongo Kyambadde Ssentebe wa LCI mu Busega Central ava mu Lubaga South era nga si mukozi wa kkooti.

Omulamuzi avudde mu mbeera
Lukwago yategeezezza omulamuzi nti byonna ebigenda mu maaso yabadde takyayinza kubikkiriza kubanga waabaddewo okugulirirwa n’amusaba aggye enta mu musango guno, kino kyanyiizizza omulamuzi n’ategeeza nti tagenda kuddamu kuwuliriza muntu mulala yenna bwatyo n’awa ensala ye ng’alagira baddemu okubala.

Kkooti yayabuse olwo obululu ne butandika okupangululwa okuva mu kkooti ne babuteeka mu luggya lwa kkooti wansi w’omuti okubala we kwakoleddwa.

Bwaleeteddwa ku maliiri ku loole okuva ku kitebe ky’eggombolola y’e Lubaga.
Nga bali mu nteekateeka y’okusumulula obubookisi Lukwago yagaanyi ng’agamba nti ayagala babusumulule ng’omulamuzi awadde ekiragiro waali.

Kino kyaggye Singh mu mbeera n’alumba Lukwago balwane era basajja ba Singh okwabadde  Benard Kibirige nga naye yali mu lwokaano n’aggyamu enta bwe baamukutte. Bano olwasirise okubala obululu ne kutandika mu maaso ga Mutazindwa.

Nga tebinnabaawo agenti wa Kasibante,  Kizito Serumaga yayagadde okwambalira Singh bubeefuke wabula poliisi n’emutebuka n’emukunguzza okumufulumya oluggya lwa kkooti ne bamuggalirayo.

Poliisi yaduumiddwa Grace Turyagumanawe eyazze mu kifo kya Andrew Sorowen eyagobeddwa lwa mivuyo egyaliwo wiiki ewedde mu kulonda Meeya, Militale poliisi wamu n’abajaasi ababulijjo nga balina ekigambo ‘ES’ ku mikono gyabwe.

Obuvuyo bwatandise ku makya era abantu musanvu okuli ; Juma Muhammed Kiyimba ow’e Namasuba gwe baakutte n’agenda ng’aleekaana nti “sigenda kutiiririra nsi yange ne Kabaka wange.”

Wabula bino byonna we yabimaliddeyo nga bamaze okumusonseka wansi mu kabangali ya poliisi mwe baamutwalidde ku kitebe kya poliisi e Kampalamukadde.

Obuwanguzi bwa Kasibante mu Lubaga North busaziddwamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...