TOP

Besigye tajja kukkiriza binaava mu kulonda

Added 18th February 2011

Bino yabyogeredde ku kyalo Rwakabengo e Kanungu amangu ddala nga yaakamala okulonda era nga yawerekeddwako mukyalawe Winnie Byanyima.

Besigye yagambye nti abantu beyabadde ataddewo okukuuma obululu bwe n’okwetegereza ebigenda mu maaso mu bitundu nga Kyankwanzi, Ruhaama, Mbale Isingiro n’awala

Bino yabyogeredde ku kyalo Rwakabengo e Kanungu amangu ddala nga yaakamala okulonda era nga yawerekeddwako mukyalawe Winnie Byanyima.

Besigye yagambye nti abantu beyabadde ataddewo okukuuma obululu bwe n’okwetegereza ebigenda mu maaso mu bitundu nga Kyankwanzi, Ruhaama, Mbale Isingiro n’awalala baabakutte nebabaggalira okubalemesa okukuuma obululubwe.

Yagambye nti okusinziira ku bikolwa bino tayinza kukakasa bivudde mu kulonda kuba kino kiraga nti yamaze dda okubbibwa. Yalagidde nti abantu be abaakwatiddwa nebwebanateebwa oluvannyuma tebassa emikono ku bivudde mu kulonda kuba bino bijja kuba bikyamu.

Yayongeddeko nti abawagizibe bangi amannya gaabwe tegasangiddwa ku nkalala za balonzi ate abalala baabakoledde akakodyo nebakyusa ebifo webeewandiisiriza nga bakira batuukawo nga babategeeza nga bwebatabalina mu nkalala z’akakiiko ka kulonda.

Yawadde ekyokulabirako nti ye yabadde wakulondera mu kisaawe mu kibuga kye Kanungu kyokka erinnya lye talisanze ku lukalala n’atambula n’alisanga awalonderwa awayitibwa Rwakabengo.

Besigye tajja kukkiriza binaava mu kulonda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...