TOP

Abatemu bakubye abatuuze 5 ennyondo ku mitwe

Added 26th January 2011

Obuzigu bwatandikidde ku mwalo e Buzibazi mu Ggombolola y’e Bbanda, Julius Tumusiime 27, bwe yattiddwa ne pikipiki ye ey’ekika kya Bajaj nayo n’ebbibwa.

Okusooka abatuuze baabadde balowooza nti Tumusiime aliko olugendo lwe yabadde afunye olw’ewala naye ku Lwokubiri baagenze okulaba nga ta

Obuzigu bwatandikidde ku mwalo e Buzibazi mu Ggombolola y’e Bbanda, Julius Tumusiime 27, bwe yattiddwa ne pikipiki ye ey’ekika kya Bajaj nayo n’ebbibwa.

Okusooka abatuuze baabadde balowooza nti Tumusiime aliko olugendo lwe yabadde afunye olw’ewala naye ku Lwokubiri baagenze okulaba nga takomawo.

“Twalingizza mu nju ye munda twagenze okulaba ng’ali mu kitaba kya musaayi ku buliri bwe. Ku mabbali waabaddewo omuggo omunene ogulinga omusekuzo, nga gulabika gwe gwamukubye,” bwatyo Matia Nkalubo, ssentebe w’ekyalo Kanyogoga ekiri mu muluka gw’e Buzibazi, omugenzi gy’abadde abeera bwe yagambye.

Nkalubo yagambye nti omugenzi abadde abeera n’omuvubuka mu nnyumba okuva mukazi we lwe yanoba, naye n’omuvubuka oyo yabadde abuze.

“Omwana oyo Ibra Turyasingula abadde mupakasi we ng’akuuma awaka.
Kyokka abatuuze bagamba nti eggulo baamulabye ng’atema omuggo ogwo, era kisoboka okuba nga ye yamusse, olwo n’agezaako okubba pikipiki naye n’emulemerera,” bwatyo ssentebe bw’agattako.

“Omwami wange yadde mbadde namuviira naye mbadde mwagala nnyo, wabula Katonda amuwummuze mirembe,” bwatyo Namwandu Deziranta Nassaazi bwe yagambye.

Poliisi y’e Mityana yaggyeyo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaaliro lya gavumenti okwongera okwekebejjebwa era oluvannyuma ne guweebwa abooluganda okuguziika.

Ate mu kibuga Mityana, abasajja babiri baapangisizza Paul Ssekyanzi okuva ku siteegi ya Audio, abatwale e Kiyudaaya ekiro ku Mmande.
Okutuuka ku kisaawe we baamukubidde ennyondo ku mutwe, pikipiki ne bagitwala.

Abazirakisa balonze Ssekyanzi ne bamutwala mu ddwaaliro e Mityana nga na kaakati gy’apookyeza n’ebisago.

Obuzigu obulala bwabadde Ttanda, owa bodaboda, Godfrey Bukenya, bwe yapangisiddwa okuva ku siteegi e Buswabulongo mu Mityana,kyokka naye ne bamukuba ennyondo ku mutwe emisana ttuku, pikipiki ne bagibba.

Bukenya yasoose n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mityana naye oluvannyuma n’ayongerwayo e Mulago.
Ate e Kikonge ku luguudo era oluva e Mityana okudda e Kampala, Isaac Kayitale akolera ku siteegi y’e Wabigalo naye yakubiddwa akatayimbwa ku mutwe emisana ttuku, era pikipiki ye ne bagitwala.

Kayitale naye yasoose n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mityana naye oluvannyuma n’ayongerwayo e Mulago.
Obuzigu obulala bwabadde Nambaale ku luguudo lw’e Busujju, abazigu bwe baakubye Nathan Tupoole ennyondo ku mutwe, pikipiki ne bagibba.

Tupole naye ali kukitanda mu  ddwaaliro e Mityana ajjanjabibwa.

 

Abatemu bakubye abatuuze 5 ennyondo ku mitwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...