Ssempebwa n’abuuza: Watuula P7 mu 1984 kyokka n’otuula S4 mu 1990 ekitegeeza nti siniya (S1-S4) wagisoma emyaka mukaaga mu kifo kya 4. Emyaka ebiri wali ludda wa?
Lukwago: Nze nvudde wala, emyaka ebiri nnali nnoonya ssente za fiizi.
Ssempebwa: ebbaluwa yo eya S6 eriko ekigambo Supplementary ekitegeeza nti waddamu. Kyokka ate nga wasoma myaka ebiri (S5-S6) ekitegeeza nti tewaddamu. Ekyo kyajja kitya?
Balooya ba Lukwago: UNEB y’evunaanyizibwa ku mabaluwa. Tulage ebbaluwa ya UNEB ennyonnyola Supplementary. Ebbaluwa z’omuntu waffe tukakasa ntuufu. Zaava mu kitongole ky’ebigezo ekya UNEB. Mubuuze aba UNEB abaamuwa ebbaluwa ezo.
Ssempebwa: Ebbaluwa kwe watuulira P7 (eya PLE) kuliko erinnya Eriyasi ate ku bbaluwa zo endala weeyita Erias. Ekyo kitegeeza nti Erias wanjawulo ku Eriyasi.
Balooya ba Lukwago: Mw. Ssempebwa, ggwe wali owuliddeyo Eriyasi omulala okuva ku Erias. Olwo lulimi lwe lukyusa empandiika (Erias kya Lungereza ate Eriyasi olwo Luganda).
Ssempebwa: E Makerere baakuwa kusoma Social Science (SWASA) ate ggwe wasoma mateeka. Ekyo kyajja kitya?
Lukwago: Nnagoberera emitendera gyonna egy’okukyusa kkoosi e Makerere.
Ssempebwa: Okukyusa kkoosi bakuwa ebbaluwa entongole. Ebbaluwa eyo gitulage.
Medard Ssegona (looya wa Lukwago): eby’ebbaluwa mubibuuze b’e Makerere.
Kiggundu: Tujja kuwandiikira Makerere etubuulire. Katwongere okwetegereza ensonga tujja kubabuulira bye tunaaba tusazeewo.
Lukwago yategeezezza abaakakiiko nti afunye ebbaluwa za Peter Ssematimba kyokka tezikwatagana.
Yawaddeyo kkopi eziraga nga Ssematimba yafuna diploma mu 1988 kyokka ate ebbaluwa eziraga nti obuyigirize bwe bwenkanankana n’ebbaluwa ya S6 ziriko March 1, 2005.
Lukwago n’asaba Ssematimba ayitibwe alage ebbaluwa ya 1988 oba agirina.
Okuva wano Lukwago yeegasse ku bawagizi be abaabadde abangi ebweru w’akakiiko (baabagaanyi okuyingira) ne bayisa ebivvulu mu Kampala nga bagenda bayimba n’okuwaana Lukwago nti tumuleese. Meeya tumuleese.
Bakira abamu basaakaanya nti bwino tumuwaddeyo. Lukwago yasoma.
Obwedda bagabira abantu obupapula, oluvannyuma Lukwago bwe yagambye nti bwe bukakasa nga Peter Ssematimba y’ataasoma.
Baayise ku Kampala Road ne bawetera ku Radio One okukkirira ku katale e Nakasero ne basala okutuuka ku katale ka Owino.
Okugenda ku kakiiko Lukwago yazze n’abantu nga 500 okuli abavubuka ab’amaanyi bakira abasindika n’okulwanyisa abaserikale abaagezezzaako okubatangira okusannyalaza ekibuga.
Lukwago yategeezezza Bukedde nti awaddeyo empapula zonna akakiiko kasalewo.
Ssempebwa yagambye nti mu kulaba kwe Lukwago yalemeddwa okuddamu ebibuuzo byonna mu ngeri ematiza n’ajuliza UNEB na Makerere.
Â
Ebivudde mu kakiiko ku mpapula za Lukwago