Ssempeebwa agamba nti musuubuzi mu Kampala era nga mulonzi w’e Mutundwe asabye akakiiko k’ebyokulonda kaddemu okwekenenya empapula z’obuyigirize bwa Lukwago kamusazeemu.
Ssempeebwa: Lukwago yatuula ebigezo by’eky’omusanvu (PLE) mu 1984 ng’akozesa erinnya ‘Eriyasi Lukwago’ mu ssomero lya Kiwaa-wo Quran School mu Disitulikiti y’e Masaka era n’afuna obubonero omugatte 16. Mu Lungereza yafuna 5, Ssayansi 5, Okubala 4 ate SST 2.
Yatuulira ku Index nnamba 28/143/014 okusinziira ku bbaluwa eyavudde mu UNEB ng’essiddwako omukono gwa C. Kibeti.
Wabula okusinziira ku mpapula Ssempeebwa ze yalaze bannamawulire, Lukwago siniya eyokuna yagituula mu 1990 (emyaka mukaaga ng’amaze okukola PLE) mu ssomero lya Kampala High School. Mu S6 empapula ziraga nti mu masomo omunaana ge yakola yayitira mu Guleedi 3 nga yakola bwati: Olungereza 6; Ebyafaayo (History) 4, Geography 6; Oku-bala 8, Physics 6, Biology 6, Art X (teyalutuula) ne Commerce 6.
Kyokka nti bwe yava eno n’agenda ku haya ku ssomero lya Ahma-diya Muslim High School era n’atuula ebigezo bya S6 mu March 1993.
Kyokka okusinziira ku satifikeeti y’ebibuuzo bya haya gye yalaze kuliko ekigambo ‘supplementary’ Ssempeebwa ky’agamba nti yafunibwa mu mbeera etali ya bulijjo.
Omwogezi wa UNEB, Eva Konde yagambye nti ebbaluwa ey’obuyigirize eriko ekigambo ‘supplementary’ bagiwa omuntu aba azzeemu ebibuuzo. Wano Ssempeebwa we yeebuuliza nti bwe kiba nga kituufu nga Lukwago yatuula ebigezo bya siniya eyokuna mu 1990, haya yalina kugituula mu March 1993 n’olwekyo ebbaluwa ye tekwandibadde kigambo ‘supplementary’ kuba yan-dibadde atuula mulundi gusooka.
Ssempeebwa agenda mu maaso maaso n’okwemulugunya nti okuyingira yunivasite Lukwago yafuna ebbaluwa emuyingiza yunivasite ng’emuwa essomo lya mbeera z’abantu erya Social Work and Social Administration (SWASA) nti era yeebuuza engeri gye yakyusaamu okutandika okusoma amateeka ng’ate obubonero 20 bwe yafuna omwaka ogwo bwali tebukkirizisa muntu kugasoma ng’asasulirwa gavumenti.
Ssempeebwa yagambye nti okwemulugunya kwe ku buyigirize bwa Lukwago yakuwadde akakiiko k’ebyokulonda.
Amyuka omwogezi w’akakiiko kano Paul Bukenya yagambye nti okwemulugunya kwonna kwe bafuna ku yeesimbyewo bakunoonyerezaako ne bazuula ekituufu.
“Okwemulugunya kwa Ssempebwa kuyinza okuba nga kwayisiddwa wa Ssentebe oba ofiisi endala ekitongole ky’amateeka ne kitakufuna’’ bwe yagambye.
Lukwago bwe yabuuziddwa ku bimwogerwako n’agamba nti tajja kwanukula byogerwa muntu yenna atali omu ku b’avuganya nabo. Kyokka mu mateeka omulonzi asobola okwemulugunya ku muntu yenna eyeesimbyewo kasita aba nga wa mu kitundu kye mw’alondera.
Omulonzi awaabidde Lukwago ku buyigirize bwe