Obubaka obwasoose okuweerezebwa ku Lwokutaano akawungeezi, bwabaddeko erinnya Chameleone nga bulaga nti y’abuweerezza abawagizi be ng’abeetondera olw’effujjo ly’azze akola. Olwafulumye, enkambi ya Chameleone n’ebwegaana n’etegeeza nti ba Goodlyfe be babuweerezza.
Waayise essaawa nga bbiri, obubaka obulala ne butandika okuweerezebwa abantu nga bulaga nti Moze Radio ne Weasel TV be babusindise. Bwabadde nabwo bwetondera abawagizi ba Goodlyfe era nga bukakasa bwe batajja kuddamu kulumba Chameleone kuba mukulu waabwe.
Buno nabwo aba Goodlyfe baabwegaanyi ne bagamba nti buvudde ku ludda luli olubayeekera. Baagasseeko nti, “Tosobola kubeera ng’odduka ate gwe kennyini ne weetega ogweâ€. Wabula Moze bakkirizza nti be baaweerezza obubaka obwasoose nga beekwese mu kubeera
Bino okubaawo, kiddiridde Goodlyfe okusitula buto olutalo ku Chameleone nga bagamba nti ayitirizza okukola effujjo, bwe baakubisizza ebipande 50,000 ne babitimba mu Kampala.
Chameleone yalagidde basajja be okutimbulula ebipande yonna gye byabadde biteereddwa. Mu kikwekweto kino, baakwatiddemu abavubuka bana abaasangiddwa nga batimba ebipande ebivumirira Chameleone ne batwalibwa ku poliisi ya CPS.
Ku bano kuliko Muniru KirUuta omutuuze w’omu Ndeeba, Ronald Lukwago w’e Bakuli, Ntege ne Abdul. Bano baalumirizza Chameleone ne basajja be nga bwe baabakubye ne babatuusaako obuvune.
Oluvannyuma lw’okubayimbula, Kiruuta ne Lukwago bagguddewo emisango ku Chameleone egy’okubakuba gattako okubabbako ebintu byabwe.
Kiruuta agamba nti baamusanga Namasuba gye baamukubira. Yagguddewo omusango ku poliisi y’e Lubowa ku fayiro nnamba SD:Ref: 13/14/01/2011. Lukwago agamba nti baamukubira ku kibangirizi ky’oku ggaali y’omukka era yagguddewo omusango ku fayiro SD: Ref: 19/12/01/2011 ku poliisi ya CPS.
Maneja wa Chameleone, Sam Mukasa yategeezezza nti aba Goodlyfe bwe baba basazeewo okutwala mu maaso n’olutalo luno, nabo tebatudde. “Naffe tujja kubalumba oba zaabike emipiira zaabikeâ€.
Ebya Jose Chameleone n’aba Goodlyfe biranze