TOP

Balula

Added 7th January 2011

Abaakubiddwa kuliko Godfrey Kizza, atunda ebitabo mu kibuga ky’e Mukono ne Lawrence Ntulume, avuga bodaboda ku siteegi y’e Wantoni mu Mukono.
Okukuba obutayibwa e Mukono kwatandikira Seeta. Abaakakubwa okuva mu  November 2010, kuliko Jackson Ssemanda, Moses Lubuulwa,

Abaakubiddwa kuliko Godfrey Kizza, atunda ebitabo mu kibuga ky’e Mukono ne Lawrence Ntulume, avuga bodaboda ku siteegi y’e Wantoni mu Mukono.
Okukuba obutayibwa e Mukono kwatandikira Seeta. Abaakakubwa okuva mu  November 2010, kuliko Jackson Ssemanda, Moses Lubuulwa, Moses Muhumuza, nga  bonna  b’e Seeta.

Abattibwa obutayimbwa kuliko munnamawulire Dickson Ssentongo, Josephine Namubiru, Reagan Amanya,  ne Vilole Nalubwama ng’ono yali muyizi wa Yunivasise y’e Mukono.

Ntulume annyonnyola nti yabadde adda ewuwe ku Lwokusatu ku ssaawa nga mukaaga ogw’ekiro kwe kusanga abasajja babiri ku kikubo ekyambuka ku ssaza ne bamuyimiriza nga baagala abatwaleko e Kyetume.

Bakkiriziganyizza n’abassa ku pikipiki ne bagenda.  Baabadde batuuka ku ssomero lya Hilton High School, kwe kuggyayo akatayimbwa ne bakamukuba ku mutwe n’ata pikipiki bonna ne bagwa.

Amaanyi gaamuweddemu kyokka mu kavuvung’ano ako yawulidde nga baliko omuntu gwe bayita eyaleese  kabangali erabika nti yabadde ekwekeddwa awantu ne batikkako pikipikiye UDL 724P ne bagitwala.

Yeekuludde n’atuuka ku buduuka ng’avaamu omusaayi mungi kwe kufuna owa bodaboda eyamututte  ku ddwaaliro lya Namirembe e Mukono.
Oluvannyuma yaggyiddwayo n’atwalibwa ku ddwaaliro ly’obwannannyini erya  Albert Cook e Mukono. Baamubbyeko essimu ne  20,000/-.

Godfrey Kizza, baamukubye ku  ssaawa 12 ku maliiri g’eggulo bwe yakedde okugenda okukola okuliraana ku siteegi y’oku Ntaawo. Bwe yatuuse ku luguudo ng’ayimiridde, abasajja babiri kwe kufubutuka mu kasiko ne bamugwira.

Mu kiseera kino omu ku basajja bano yaggyeyo akatayimbwa n’akakuba Kizza n’agwa wansi. Bwe yagudde omu ku batemu kwe kumulinnyirawo ekigatto kyokka nga Kizza aleekaana.

Abatemu olwalabye abadduukirize kwe kufubutuka ne badduka. Kizza naye yatwaliddwa mu ddwaliro lya Namirembe gye yafunidde obujjanjabi.
Aduumira Poliisi e Mukono, Alifunsi Musoni yagambye nti baasobodde okukwata  Richard Sseruggya ne Yasin Kabanda nga kigambibwa nti omuserikale  eyabadde akuuma okumpi n’ essomero lya Hilton awaakubiddwa Ntulume, yeetegerezza abasajja bano nga badduka okuva mu kifo we baakubidde Ntulume akatayimbwa.

Omukuumi  yategeezezza poliisi nti amaze ekiseera ng’alaba abasajja bano era ebiseera ebimu banyaga abantu mu kifo kino. Emisana yabadde abalabyeko mu kitundu ekyo.
   
 

Balula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....