TOP

Omujaasi akubye muganzi we amasasi

Added 3rd January 2011

Shamim Namakula ow’e Bbunga mu Trading Centre zooni yakubiddwa amasasi ku ssaawa 10 ez’oku makya bw’abadde ava mu bbaala emanyiddwa nga Ankoz esangibwa ku luguudo oludda e Kawuku. Namakula abadde akola wa Muzungu e Bbunga.

Mukwano gwa Shamim gwe baabadde naye mu bbaala era nga basula bonna

Shamim Namakula ow’e Bbunga mu Trading Centre zooni yakubiddwa amasasi ku ssaawa 10 ez’oku makya bw’abadde ava mu bbaala emanyiddwa nga Ankoz esangibwa ku luguudo oludda e Kawuku. Namakula abadde akola wa Muzungu e Bbunga.

Mukwano gwa Shamim gwe baabadde naye mu bbaala era nga basula bonna mu nju, Judith Nampijja  anyumya bwati : Bwe twabadde mu bbaala ku ssaawa 10 ez’ekiro Shamim n’ang’amba nti muganzi we gw’amanyiiko erya James amukubidde essimu. Yafulumye ng’ayogera ng’akutte n’eccupa ye eya bbiya mu ngalo.

Nnamulinze nga takomawo nze kwe kudda eka. Kyokka nnabadde nnaatera okutuuka we tusula ne nsanga muganzi wa Shamim omulala omujaasi wa UPDF Private Hakim Buniya era ng’akuuma maka ga Col. Sam Kavuma agazimbibwa mu kitundu kino  n’ambuuza mu bukambwe nti, “Shamim omulese wa?”  ne mmuddamu nti asigadde mu bbaala nze ne nzigulawo ne neebaka.

Nampijja agamba nti  kyokka  ku makya Ssentebe w’ekyalo,  James Luyimbaazi n’abaserikale baakedde kumukonkona ne bamubuuza munne era be baamubikidde nti afudde.

Ate omutuuze Sheikh Abdullah Kawooya agamba nti omupangisa we eyabadde akedde okusiika capati ku ssaawa 10 abasajja babiri ne bajja nga beegoba oluvannyuma lw’okukuba essasi eryasoose ye n’alowooza nti bagoba mubbi kyokka nti waayiseewo akaseera katono n’essasi eryokubiri ne livuga.

Abatuuze abalala baawulidde  Shamim ng’akonkona ku geeti y’omutuuze ng’alaajana okumuyamba n’oluvannyuma ne bawulira essasi.
Kiteeberezebwa nti Buniya yawondedde Shamim ne muganzi we James Henry Lumu  mu bbaala era ng’alina ekigendererwa ky’okutta omusajja kyokka essasi bwe litaamukutte obusungu n’abumalira mu Shamim.

Poliisi yakutte Lumu asangiddwa nga yekwese mu nju wansi w’ekitanda kye ng’ono ye yabadde ne Shamim we bamukubidde essasi. Lumu ategeezezza nti yakomye okulaba  Shamim ku ssaawa bbiri ez’ekiro.

Moses Talemwa omujaasi omulala bwe bakuuma ne Buniya agamba nti yayawukanye ne munne ku ssaawa emu n’ekitundu ey’akawungeezi buli omu n’agenda gy’asuula nti kyokka enkeera bwe yategedde nga Shamim gw’abadde amanyi nga muganzi wa Buniya bamusse n’agenda abikire Buniya gwe yasanze yeebase  kyokka munne teyafuddeyo.

Poliisi yegattiddwako abaserikale ba militale abaazinze amaka ga Col. Kavuma okunoonya  Buniya kyokka yeemuludde n’adduka emmundu n’agireka mu nju.

Poliisi yazudde ebisosonkole by’amasasi bibiri mu kifo awaabadde omulambo gwa Shamim nga bifaanana amasasi agakozesebwa mu mmundu Buniya gye  yabadde nayo.

Poliisi e Kabalagala eguddewo omusango ku namba SD:07/03/01/2010.

Omwogezi wa UPDF, Lt Col. Felix Kulaigye agambye nti emmundu ya Buniya yasangiddwa ng’ebulamu amasasi abiri era bamunoonya nga bamuteebereza nti ye yasse Shamim.

Omujaasi akubye muganzi we amasasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...