TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Ow’abakazi 3 afiiridde mu buliri ne muka ‘neyiba’

Ow’abakazi 3 afiiridde mu buliri ne muka ‘neyiba’

Added 20th December 2010

Bino byabadde ku kyalo Kirindi mu ggombolola y’e Nazigo mu disitulikiti y’e Kayunga Bugerere mu kiro ekyakeesezza Mmande.

John Kalema, aludde ng’abojjerera muka mulirwanawe Andereya Lyanto era ng’omusajja ono aludde ng’alabula omusiguze amuviire ku mukazi kyokka nga Kalema abyegaana.

Bino byabadde ku kyalo Kirindi mu ggombolola y’e Nazigo mu disitulikiti y’e Kayunga Bugerere mu kiro ekyakeesezza Mmande.

John Kalema, aludde ng’abojjerera muka mulirwanawe Andereya Lyanto era ng’omusajja ono aludde ng’alabula omusiguze amuviire ku mukazi kyokka nga Kalema abyegaana.

Omukazi eyavuddeko embeteza ye Beesi Naigaga Omusoga era nga Lyanto yamusasula mu bakadde be e Busoga omwaka oguwedde 2009.

Kalema abadde  alina ebbaala ku kyalo, kuno kw’agattiriza omulimu gw’okulima. Mu bbaala eno mw’abadde akwanira baka basajja ng’ayita mu kubagulira walagi n’omwenge Omuganda.

Lyanto aludde nga yeemulugunya nti mukazi we bw’agenda ku luzzi alwayo ate nga yeeewungulawungula mu budde obw’ekiro kumbe ng’agenze ku bbaala ya Kalema.

Lyanto akola bwakinyoozi mu kabuga k’e Kirindi. Ku Ssande Lyanto lw’asinga bakazitooma era Naigaga yakozesezza omukisa guno okusisinkana Kalema.
Baagenze mu kasiisira akali ku kyalo abasajja ke bakozesa nga loogi  ne bayingira ku ssawa 2:00 ez’ekiro ne batandika okusinda omukwano.

Akasiisira kano mwe baabadde waliwo omutuuze eyakazimba kyokka ye ku kyalo n’asengukako era wano Kalema n’abasajja abalala ne beesonda ne bagula akafaliso ne bakateekawo ng’eyo gye baganzika abawala n’abakazi be bakwana.

Naigaga yategeezezza  nti omugenzi bwe yamunonye bagende, yabadde agaanyi kyokka mukwano gwa Kalema eyamuwerekeddeko kwe kumumatiza nti ayise ku ssaluuni ya Lyanto (bba wa Naigaga) ng’alina bakasitoma bangi abamulindiridde okubasala enviiri era yabadde tajja kubakwata era bwatyo Naigaga naye n’akkiriza okugenda.

“Bwe twalinnye ekitanda ne tutandika emikolo teyaluddeyo ate nga bulijjo atera okulwawo nga tannaba kunvaako. Yatandise okussiza okumukumu ne mmubuuza ky’abadde awo n’assa ekikkowe omulundi gumu n’asirika,” Naigaga bw’annyonnyola ku nfa ya Kalema.

Agamba nti yadduse n’agenda n’ayita Wamala abadde mukwano gwa Kalema.
Abatuuze balumiriza nti Lyanto oluvannyuma lw’okulabula Kalema amuviire ku mukazi yagenda ku musawo w’ekinnansi omu e Galiraaya gye yaggya eddagala n’alisiiga Naigaga era nga lye lyasse Kalema.

Mukazi wa Kalema nnamba bbiri, Lovinsa Nalumansi yantegeezezza nti baamunonye awaka ekiro ku ssaawa 7:00 nti bba afudde.
Nalumansi agamba nti Kalema abadde yaakamuzaalamu abaana mukaaga ate mukyala mukulu nga yamuzaalamu abaana musanvu, omugole abadde n’omwana omu kuno kw’ossa abaana mwenda be yasooka okuzaala mu mukazi gwe yasookerako okuwasa.

Naigaga ne Lyanto poliisi y’e Kayunga ebakutte n’ebaggalira ate ggwo omulambo gwa Kalema poliisi egututte mu ggwanika ly’eddwaaliro ly’e Kayunga.

Ow’abakazi 3 afiiridde mu buliri ne muka ‘neyiba’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...