TOP

Ssemuju owa FDC bamuteeze ne bamukuba

Added 18th November 2010

Ssemuju bwe yawabye gye yatomeredde omuvuzi wa bodaboda Samuel Muwonge abeera e Nateete eyabadde ku pikipiki nnamba UDQ 482D eyafiiriddewo mbulaga ate abalala babiri ne balumizibwa ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Ssemuju  yafunye  obuvune mu kifuba n’ebisago ku mikono ate emmotok

Ssemuju bwe yawabye gye yatomeredde omuvuzi wa bodaboda Samuel Muwonge abeera e Nateete eyabadde ku pikipiki nnamba UDQ 482D eyafiiriddewo mbulaga ate abalala babiri ne balumizibwa ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Ssemuju  yafunye  obuvune mu kifuba n’ebisago ku mikono ate emmotoka ye Toyota Harrier nnamba UAM-229S yo yaweddewo oluvannyuma lw’okwefuula emirundi esatu.
Ssemuju, ategeka okwesimbawo ku bubaka bwa Kyaddondo East ku kaadi ya FDC,  agamba nti asuubira nti enjawukana z’alimu n’ab’enkambi ya Micheal Mabbike ayagala okuvuganya ku bwameeya bwa Kampala zandiba  nga ze zavuddeko abantu abatannamanyika okumuteega n’okumugoba amale afune akabenje.

Mu kiseera kino Ssemuju   awagira Erias Lukwago okubeera kandideeti wa IPC ku bwameeya bwa Kampala  yadde ng’abakungu ba IPC abakulirwa Maj.Rubaramira Ruranga bawagira Mabikke.

Ssemuju agamba nti bwe baabadde mu situdiyo za CBS nga bakubaganya ebirowoozo ku pulogulaamu ya ‘Kkiriza Oba Gaana’ ng’ali ne munnamateeka Joseph Luzige, omukungu w’ekibiina kya Mabikke ekya SDP  Henry Lubowa yagezezzaako okuyingira situdiyo kyokka nga beesibiddemu.

Ayongerako nti situdiyo bwe yagguddwawo okusobozesa Minisita Apollo Makubuya okuyingira wano Lubowa we yafunidde omukisa n’ayingira kyokka ne bamufulumya ku kifuba.
Olwo zaabadde ssaawa nga 3.35 ez’ekiro era bagenze okufuluma Lubowa baamusanze akyali mu Bulange  nti kyokka Ssemuju  eyabadde ne ddereeva we  Hamis Ssebuuma  tebakifuddeko.

agamba nti baatidde okuyita mu Kabakanjagala olw’okuba lwabadde lukutte enzikiza kwe kwolekera Mmengo  ne bakkirira nga ku bitaala by’e Bbakuli nti kyokka ddereeva bwe yatunudde mu ndabirwamu y’emabega ne yeekanga emmotoka eyabadde emuwondera.

Emmotoka etuwondera
Ssemuju  ayongerako nti nga batuuse ku ssomero lya Old Kampala S.S emmotoka eno eyabadde eggyirako ne pikipiki ezaalabise ng’eza bobaboda yagezezzaako okubayisa ebeekiike mu maaso wabula n’alabula dereevawe obutagikkiriza.

‘Bwe twatuuse ku Old Kampala poliisi mmotoka ne yeekukuutiriza etwekiike mu maaso kyokka dereeva n’ayongeramu omuliro olwo ne tukkirira ku Gaddafi Road kyokka we twatuukidde ku ssomero lya Agakhan ng’abali mu mmotoka n’abali ku pikipiki batandise okutukasuukirira amayinja ng’eno bwe batugoba agakwasizzaako endabirwamu,” Ssemuju  bw’atottola.

N’agamba nti bayongedde okudduka nti kyokka baabadde batuuka ku tendekero lya LDC  ate ne mu maaso n’ewamatukayo pikipiki nga nnya nga zimazeeyo ekkubo nga ziringa ezeekobaanye n’ababadde babagoba olwo dereeva kwe kuzambalira mmotoka n’eva ku luguudo ne yeekkata mu  mufulejje oluvannyuma lw’okwefuula.
Wabula Lubowa era nga ye mwogezi wa SDP eggulo yategeezezza nti yeewuunya okuwulira nti Ssemuju alinga ayagala okulowooza nti olwokuba yabaddeko ku CBS kitegeeza nti  aliko ky’amanyi ku by’akabenje n’agamba nti ate nga si kituufu.

Yeegaanyi nti teyayingiddeko situdiyo za CBS ku kifuba.Yawakanyizza ebigambibwa Ssemuju nti abawagizi ba Mabikke be baamuteeze. Mmotoka ya Ssemuju  poliisi yagiggyewo n’egitwala e Kampalamukadde gye yabadde egenda okuggyibwa eyongerweyo e Naggulu.

Ng’akabenje kaguddewo Nganda agamba nti mmotoka eyabadde ebawondera ne pikipikizi zayanguye okubulawo kubanga abantu baabadde bakung’anye nga ne poliisi ezze.
Yakubidde Lukwago essimu eyazze n’omukungu wa FDC Salaamu Musumba abaabayambyeko okubatwala ku Case Clinic gye baafunidde obujjanjabi.

Akulira poliisi y’ebidduka e Wandegeya Livingstone Labejja yategeezezza nti akabenje kavudde ku kubeera nti mmotoka ya Ssemuju yabadde edduka nnyo.
Poliisi yagguddewo omusango gw’akabenje ku fayiro nnamba TAR 1024/2010 ku poliisi e Wandegeya.

Ssemuju owa FDC bamuteeze ne bamukuba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...