TOP

Aba DP basimbye omuntu ku Nambooze

Added 18th November 2010

Kino we kijjidde ng’abamu ku bakungu mu DP balangiridde nga bwe batagenda kuwagira munnakibiina Erias Lukwago (Kampala Central

Kino we kijjidde ng’abamu ku bakungu mu DP balangiridde nga bwe batagenda kuwagira munnakibiina Erias Lukwago (
Kampala Central) mu kuvuganya ku kifo kya Meeya wa Kampala ne kisalawo okuwagira Micheal Mabikke owa SDP.

Ssabawandiisi wa DP Mathias Nsubuga yagambye nti kaweefube waabwe okutabagana ne Nambooze wamu ne Lukwago agudde butaka olwa kye yayise amalala, obujeemu n’okwemanya bombi bye balina.

Nsubuga yagambye nti baddiddemu Dr. Lulume Bayiga (
Buikwe South) ne Medard Lubega Sseggona eyalekulira Obwaminisita bw’amawulire e Mmengo era ng’ayagala okwesimbirawo ku kaadi ya DP mu Busiro East oluvannyuma lw’okwemenya era ne balaga obuwulize eri ekibiina.

Wabula Nambooze yagambye nti ensonga za Mukono tezirina kusalirwawo Kampala n’agattako nti alina essuubi nti olukiiko lwa DP olw’ettabi ly’e Mukono lwakutunula mu nsonga zino era kye lunaasalawo ky’alindirira.

“Tekibeera kya bwenkanya okunsalira omusango nga tebampadde mukisa kwewozaako. Teri mulundi gwe baali bampise nti nneewozeeko ne ng’aana okugendayo, lwaki basalawo awatali kumpuliriza?” Nambooze bwe yayogedde ng’alaga obutali bumativu.

Kyokka Nsubuga yatangaazizza nti Nambooze teyaggyayo mpapula zisaba kuvuganyiza ku kaadi ya DP era nga tebalina kwe basinziira kumuddiramu, wabula kino Nambooze akiwakanya ng’agamba nti ye yakolagana na ttabi lya kibiina e Mukono mwe yayisa okusaba kwe era ly’eririna okusalawo ekyenkomeredde.

Sseggona bwe yatuukiriddwa yagambye nti: Obuwulize bwange eri ekibiina tebukyukangako, wabula kye sikkaanya nakyo kwe kukakibwa okubeera omuwulize eri abantu obuntu. Nawaddeyo empapula ezisaba tikiti ya DP ku kifo kya Busiro East kubanga emirandira gy’ekibiina gyonna mu kitundu ky’e Busiro gimpagira ate nga n’ebisaanyizo ku kifo ekyo byonna mbirina, wabula abamu ku bakulira ekibiina ne basooka bakisimbira ekkuuli nti olw’okuba ndi mu Ssuubi.

Kinsanyusizza okubeera nga bakirabye nti nze nsaanidde okukwata bendera ya DP mu Busiro East. Ate omubaka Lulume yagambye nti: Nazzeeyo mu bulumi kubanga kkooti gye twagenda nga tuwakanya obukulembeze obwalonderwa mu ttabamiruka w’e Mbale yawa bannaffe abo obuyinza okugira nga baddukanya ekibiina era bye bakola n’akakiiko k’ebyokulonda bye kagoberera.

Aba DP basimbye omuntu ku Nambooze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...