TOP

Abasse omusuubuzi wa Shauriyako babakutte

Added 17th November 2010

Abaserikale kuliko Kabatisa, Lutabi ne Kirama abaggaliddwa mu nkambi ya poliisi e Nsambya.

Bagguddwako emisango ebiri  okuli okugayaalirira omulimu gwabwe ate ne balemererwa okutangira olutalo olwabaddewo omwafiiriddfe omusuubuzi Sserumagga.

Ate abalala abaakwatiddwa kuliko omugagga Said N

Abaserikale kuliko Kabatisa, Lutabi ne Kirama abaggaliddwa mu nkambi ya poliisi e Nsambya.

Bagguddwako emisango ebiri  okuli okugayaalirira omulimu gwabwe ate ne balemererwa okutangira olutalo olwabaddewo omwafiiriddfe omusuubuzi Sserumagga.

Ate abalala abaakwatiddwa kuliko omugagga Said Niwosiima eyeewola emipiira okuva ku Tony Sserumaga kyokka n’agaana okumusasula, ddereeva wa breakdown, Stone Lubowa, ttanibooyi Julius Ssegirinya bombi nga baaluganda ssaako muganda w’omugenzi Henry Katumba.

Omuduumizi wa poliisi y’e Katwe Reuben Wasiima yagambye nti n’abantu abalala bakyakwatibwa ku musango.

“N’akulira poliisi y’e Nateete, Richard Kuteesa tugenda kumukwata olw’okulemererwa okutunuulira ekiti omugwa omusango guno nga tannaba kusindika baserikale be,” Wasiima bwe yagambye.

Omugenzi Sserumaga yattiddwa ku Mmande olweggulo bwe yabadde agenze okubanja ssente ku musuubuzi akola ogw’okutambuza ebintu Said Niwosiima.

Omugenzi yaguza Niwosiima emipiira gya mmotoka y’ekika kya FUSO ebiri ku ssente 1,300,000/- kyokka n’amusasulako 1,000,000/- n’esigalayo 300,000/- ze yabadde agenze okubanja.

Yasanze mmotoka ya FUSO okwabadde emipiira agiguzizza makanika w’e Bwaise eyategeerekeseeko erya Tutuma era ng’asindise breakdown egitwale.

Omugenzi yaloopa omusango ku poliisi y’e Nateete eyamuwadde abaserikale basatu ne bamuwerekera okutangira mmotoka eyabaddeko emipiira egibanjibwako.

Dereeva wa ‘breakdown’ Lubowa ne kondakita we Ssegirinya nga balagirwa Said Niwosiima baagaana okuwuliriza Sserumaga ne poliisi.

Baalwana era mu kavuvung’ano Sserumaga n’akubwa bubi era yafudde atwalibwa mu ddwaaliro e Lubaga.

 

Abasse omusuubuzi wa Shauriyako babakutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...