TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Aba bodaboda balwanidde ssente za NRM omu ne bamutta

Aba bodaboda balwanidde ssente za NRM omu ne bamutta

Added 10th November 2010

Olutalo lwabadde ku ofiisi z’ekibinja ekimu ekiyitibwa NRM Cadres Bodaboda Riders ekikulirwa Kanyike Kiviiri ekyakoze ofiisi ku  Lubaga Road okuliraana Kitendhe schools nga balwanagana n’abekibiina kya Bodaboda 2010 Ltd. ekikulirwa Atannasi Kafeero nga kirina ofiisi zaakyo ku Martin Road e Kamp

Olutalo lwabadde ku ofiisi z’ekibinja ekimu ekiyitibwa NRM Cadres Bodaboda Riders ekikulirwa Kanyike Kiviiri ekyakoze ofiisi ku  Lubaga Road okuliraana Kitendhe schools nga balwanagana n’abekibiina kya Bodaboda 2010 Ltd. ekikulirwa Atannasi Kafeero nga kirina ofiisi zaakyo ku Martin Road e Kampalamukadde.

Bino biddiridde ssente ezigabirwa aba bodaboda okukulembera Museveni n’aba NRM abalala abeesimbyewo. Kigambibwa  nti buli kibiina kyagala bammemba baakyo be baba baganyulwa mu ssente zino. Buli bodaboda ewerekera aba NRM mu kampeyini esasulwa 20,000/- mu Kampala.

Omukwanaganya w’ekibiina kya NRM Cadres Bodaboda Riders, Isaac Kashaija yategeezezza nti abawagizi b’ekibiina kya Kafeero baalumbye ofiisi yaabwe ku Lwokusatu oluwedde ne basangamu abavubuka bana ne batandika okubakubisa waya z’amasannyalaze n’emitayimbwa era babiri ne baaweebwa ebitanda e Lubaga, omulala e Mulago.

Yagasseeko nti munnaabwe Saidi Lubega akolera ku ppaaka enkadde okuliraana Mukwano Arcade yadduse n’asimattuka okukubibwa.

Wabula  waliwo aba bodaboda abaamuzingizza enkeera ku Lwokuna e Lubowa okuliraana Roofings ku lw’e Ntebe ne bamukuba ennyondo ne bamutta.

Yaziikiddwa Rakai.
Abaakubiddwa ne baweebwa ebitanda e Lubaga ye  Charles Mugisha ne Kato Kizito ate Gerald Mukalazi n’atwalibhwa e Mulago. Ababiri baasiibuddwa  Mugisha yekka y’akyali e Lubaga.

Ssentebe wa NRM Cadres Bodaboda Riders mu Kampala Central, Kanyike Kiviiri yategeezezza nti ekibinja kya Bodaboda 2010 ltd. kye kyabalumbye ku Lubaga Road ne boonoona ebintu bya ofiisi byonna omuli kompyuta bbiri ze baayasizza okukuba abantu n’okwonoona ebintu ebirala omuli entebe ,emmeeza ne fayiro.

Robert Kasendwa owa  NRM Caders Bodoboda Riders yategeezezza yabaddewo era baabazinze tebeetegese ne babakuba.

Yeemulugunyizza nti enfunda eziweras bazze baloopeera  poliisi ya Kampalamukadde nga aba Bodaboda 2010 bwe babeewerera okubakolako obulabe kyokka poliisi n’etefaayo.

Mukalazi omu ku baakaawonawo agamba nti yalabye ekibinja ky’abasajja nga 20 era nga mulimu baamanyi  nga balina emitayimbwa ne waya, n’ayita emmanju n’adduka, era okuddamu okutegeera ng’ali ku kitanda.      

Mmemba w’ekibiina kino omulala, Lauben Tumwine yategeezezza nti okubalumba baabadde  bekwasa nti ofiisi ya Lubaga Road eriwo mu bukyamu kyokka ng’ekituufu kiri nti ey’oku  Martin Road y’eriwo mu bukyamu kubanga bo aba Lubaga Raod baalonda mu mateeka era obukulembeze obwabwe buli mu mateeka.

Kashaija yategeezezza nga bwe baawaabira ab’ekibiina kya Kafeero ne banne ku poliisi ya Kampalamukadde ku fayiro namba SD39/04/11/10 ogw’okugezaako okutta abantu n’okwonoona ebintu ne fayiro  SD71/03/11/10 ogw’okukuba abantu.

Atanansi Kafeero yategeezezza ku ssimu  nti, “Nze simanyi ku bya lutalo olwo wabula kye nnawuliddeko abo baalwanye bokka na bokka mu ofiisi zaabwe eziri ku Lubaga Road”.

Yategeezezza nti abo baakola ofiisi kyokka ng’omuntu ye gw’amanyi alina ofiisi za NRM ezikkirizibwa mu Kampala okukunga abantu ye Abdul Nsereko era abanoonyeza pulezidenti Museveni obululu mwe beegattira.

Ssentebe wa Namirembe Road Village, Nuhu Ziwa yagambye nti abaakubiddwa bwe bajja okussaawo ofiisi baamweyanjulira era nga balina empapula eziraga nti bakola mulimu gwa Pulezidenti okunoonya akalulu okumala emyezi esatu era n’abakkiriza.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Iddi Ssenkumbi yategeezezza Bukedde nti, bakyanoonyereza ku musango guno era abaakuba bannaabwe banoonyezebwa.

Endooliito za Bodaboda zaatandika bannabyabufuzi nga bakulemberwa RDC wa Lubaga, Zaina Muwonge, bwe baategeka okulonda kwa bodaboda nga bakolagana n’eyali Town Clerk wa KampalaRuth Kijjambu.

Okulonda  kwawakanyizibwa abakulembeze ba bodaboda era RDC Alice Muwanguzi n’akuyimiriza kyokka  Kafeero ne banne  ne bagenda nakwo mu maaso.

Aba bodaboda balwanidde ssente za NRM omu ne bamutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....