TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Ababbi ba mmotoka ddiiru babadde bazikolera ku luguudo lwa William

Ababbi ba mmotoka ddiiru babadde bazikolera ku luguudo lwa William

Added 19th October 2010

Aba LC ku luguudo lwa William bagamba nti Kazawula yajjawo mu 2002 n’abasaba bamukirize akolere mu kitundu kyaffe.

Yatugamba nti y’omu ku baalwana olutalo e Rwanda kuba talina w’agenda kutandikira. Kyokka nti Kazawula teyalina dduuka mw’akolera kyokka ng’abeera ku luguudo ne banne nga b

Aba LC ku luguudo lwa William bagamba nti Kazawula yajjawo mu 2002 n’abasaba bamukirize akolere mu kitundu kyaffe.

Yatugamba nti y’omu ku baalwana olutalo e Rwanda kuba talina w’agenda kutandikira. Kyokka nti Kazawula teyalina dduuka mw’akolera kyokka ng’abeera ku luguudo ne banne nga banyumya n’okukuba amasimu agatata.

“Twamukkiriza naye yamalawo emyezi mukaaga n’atandika okuyita n’emmundu. Twamu-loopa ku kitebe kya bambega b’amagye ekya CMI ne bamukwata ne bamuggalira kyokka yamalayo ebbanga ttono n’akomawo,” William Paul Kabuye owa LC 1 ku bwe yagambye.

Ate ye Godfrey Ssempijja naye eyakwatiddwa mu kibinja ky’ababbi bagamba nti naye abadde abeera ku William are abadde yeeyisa kigagga era nga yeekazaako lya ‘mugagga omuto’ era ng’ajerega banne nti ssente bwe zikulema mu buto oba tokyazifunye.

Abadde alina edduuka ly’amasimu ku Arua Park n’emmotoka y’ekika kya  RV 4 mwe yeevugira.

Abadde alina ekibinja ky’abavubuka b’akolagana nabo abatunda amasimu ku kizimbe kya Kalungi Plaza era mu kibinja ky’ekimu nga bakolagana nnyo ne Kazawula.

Omubbi omulala Ronald Asiimwe Kanyonkole naye abadde akasibira ku  William.

Kanyankole kigambibwa nti ye yatta Raymond Nkata eyali bulooka w’ettaka era bwe baamala okumutta omulambo ne bagussa mu mmotoka ne bagutwala mu maka ga Kazawula ne balya emmere.

Bwe bwaziba omulambo ne bagutwala ne bagusuula e Ndejje.

Ye Gerald Mukasa, naye eyakwatiddwa mu babbi b’emmotoka mugagga alina amayumba, kkampuni epangisa mmotoka n’okuwoola ssente era yaliko ssentebe wa siteegi ya sipensulo e Bukoto.

Mukasa yakwatiddwa ne mukwano gwe Edward Nsubuga abadde amuvugira ezimu ku mmotoka ze kyokka abamanyi Nsubuga bagamba nti abadde yeeyita mbega wa poliisi nti akolera ku Poliisi ya Kampalamukadde.

Deboer Richard ssentebe wa siteegi ya sipensulo e Bukoto okuliraana kkanisa ya St. Andrews n’abavuzi abalala abakolerawo baategezezza nti Mukasa bamumanyi ng’omusajja omuntumulamu era kyabeewuunyisizza nnyo okumulaba mu mawulire ng’akwatiddwa mu babbi b’emmotoka.

Bagamba nti  yakolako nabo era yaliko ssentebe waabwe ku  siteegi eno kyokka oluvannyuma yabavaamu ng’afunye ssente n’atandikawo kkampuni epangisa mmotoka n’okuwola ssente nga ofiisi ze ziri Bukoto okuliraana siteegi eno.

Mukasa kigambibwa nti mugagga alina amayumba era mmotoka abadde azikyusakyusa.

Emabegako abadde asula Kyebando Kisalosalo mu maka ge agali okuliraana esomero lya Cleveland Hill kyokka bwe yafuna obutakkanya ne mukazi we nga (Mukasa) ayagala okutunda amaka gano asasule amabanja ga bbanka amangi g’alina ekyabavirako n’okwawukana yavaamu nga kati gapangisibwa bajaasi abasulamu.

Kyokka muto wa Mukasa ayitibwa Javira Lumala yategeezezza nti mugandawe bamulanga bwemage, okumukwata yali agenze kununula munne Edward Nsubuga gwe bakwatira e Kalisizo ne mmotoka ya mukyala wa Mukasa omulala gw’abeera naye kati bwe bagisanga ne Nsubuga nga talina bigyogerako.

Lumala yategeezezza nti mu kiseera kino Mukasa asula Kireka okuliraana n’essundiro ly’amafuta erya Shell kyokka ng’alina amaka amalala e Gayaza ge yagula nga gy’ateekateeka okudda.

Abatuuze b’omu Kisalosalo abamanyi Mukasa bbo bategeezezza nga bwe babadde bamumannyi ng’omusajja omuccakaze era atayisa sikaati kyokka abadde yaggwamu mu by’ensimbi era nga ne bbanka zimubanja nnyo.

Ababbi ba mmotoka ddiiru babadde bazikolera ku luguudo lwa William

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.