TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Bbomu esse aba al-Shabaab nga bagitega abajaasi ba UPDF

Bbomu esse aba al-Shabaab nga bagitega abajaasi ba UPDF

Added 22nd August 2010

Bbomu eno egambibwa nti ebadde n’amaanyi ga ttani nga 20 ekubye aba al Shabaab n’ebatemaatema obulere oluvannyuma n’ebookya n’ekizimbe kya  Jalle-Siad Building mwe babadde bagitega kyonna ne kituula ku ttaka.

Emirambo gy’aba al Shabaab 11 gye gyabadde gyakabalibwako  wabula nga gyon

Bbomu eno egambibwa nti ebadde n’amaanyi ga ttani nga 20 ekubye aba al Shabaab n’ebatemaatema obulere oluvannyuma n’ebookya n’ekizimbe kya  Jalle-Siad Building mwe babadde bagitega kyonna ne kituula ku ttaka.

Emirambo gy’aba al Shabaab 11 gye gyabadde gyakabalibwako  wabula nga gyonna tegitegeerekeka olw’amaanyi ga bbomu. Bbomu eno yayuguumizza ekibuga Mogadishu era waabaddewo okutya nti yandiba nga yasse n’abantu baabulijjo.

Minisitule ey’ebyamawulire mu gavumenti ya Somalia ey’ekiseera etegeezezza mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa ku Ssande  nti mu balwanyi ba al Shabaab abaafudde mwabaddemu enzaalwa za Pakistan, Afghanistan, Algeria , Buyindi ne Somalia.

Abalwanyi bano  abaafudde be bamu kw’abo abapya abaakeesogga eddwaaniro e Somalia nga bava mu mawanga ga Buwarabu omuli Afghanistan, Pakistan, Iraq, Yemen, Iraq n’amalala

Ekiwandiiko kyategeezezza nti bbomu eno yabwatuse ng’abalwanyi baakamaliriza okugitega, bali mu kugisabira ssaala  esobole okutta abalabe ba Somalia kyokka ne yeenasula yokka n’ebakuba bubi nnyo.

Bbomu bwe yabwatuse aba al Shabaab ne beewaana nga bwe baakubye omulabe wabula amawulire bwe gaabatuuse nti bbomu ekubya balwanyi baayo, tebalina kye baayogedde.

Omwogezi w’amagye ga Uganda mu Somalia, Maj. Ba-Hoku Barigye  yategeezezza nti bbomu yabwatukidde mu kitundu ekiri mu mikono gy’aba al Shabaab n’agamba nti tebalina mujaasi wa UPDF oba owa gavumenti ya Somalia eyatuusiddwako ekisago kyonna.

Yagambye nti ekizimbe bbomu mwe yabwatukidde kitera kulawunibwa amagye ga Burundi kyokka mu kiseera ekyo tebaabaddewo.

Omu ku batuuze b’omu Mogadishu, Adan Yusuf eyatuuseeko mu kifo bbomu we yabwatukidde  yagambye nti omuwendo gw’abaafudde gusuubirwa okulinnya kubanga yabadde ya maanyi.

Yusuf yagambye nti oluvannyuma ekifo kino kyebunguluddwa aba al Shabaab ne bagobawo abantu baabulijjo ne bannamawulire abaabadde bakung’aanye.
 

 

Bbomu esse aba al-Shabaab nga bagitega abajaasi ba UPDF

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...