TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Ab’ebyokwerinda baazizza ennyumba y’e Namasuba

Ab’ebyokwerinda baazizza ennyumba y’e Namasuba

Added 3rd August 2010

Ennyumba eno ey’ekisenge n’eddiiro esangibwa mu Para Zooni e Namasuba era yazindiddwa ku Mmande ng’abaserikale abaagyazizza baayambiddwako embwa eziwunyiriza bbomu.

Wabula tewali kintu kyonna kyaggyiddwa mu nju eno kubanga omuntu eyali agibeeramu eyategeerekeseeko erya Moses yali ya

Ennyumba eno ey’ekisenge n’eddiiro esangibwa mu Para Zooni e Namasuba era yazindiddwa ku Mmande ng’abaserikale abaagyazizza baayambiddwako embwa eziwunyiriza bbomu.

Wabula tewali kintu kyonna kyaggyiddwa mu nju eno kubanga omuntu eyali agibeeramu eyategeerekeseeko erya Moses yali yagisengukamu omwezi mulamba emabega.

Nnannyini nnyumba eno ataayagadde kwatuukiriza mannya ge yategeezezza nti yabadde talina kinene kya nnyo ky’amanyi ku muvubuka ono Mosese eyali abeeramu kubanga yafulumanga ku makya ate ng’adda kiro.

Muka nnannyini nju eno oluvannyuma yatwaliddwa abebyokwerinda ayongere okubannyonnyola ebikwata ku mupangisa we gwe yagambye nti tamanyi bimukwatako. Waliwo n’omusajja omulala era eyakwatiddwa okuva mu Para Zooni nga kigambibwa nti mugandawe y’omu ku bantu abaatega bbomu.

Mu kiseera kino poliisi erowooza ku ky’okuta abantu abawerera ddaka 40 n’omusobyo abazze bakwatibwa ku bya bbomu b’emaze okubuulirizaako n’ekakasa nti tebalina kakwate ku bikolwa bino.

Bangi ku bantu bano Basomali, abalala Bapakistani, Bannayuganda n’enzaalwa za Yemen nga kuliko n’omu okuva mu Congo.

Ab’ebyokwerinda baazizza ennyumba y’e Namasuba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...