TOP

Aba NRM e Sembabule balwanye

Added 2nd August 2010

Mu kiseera kino, embeera yabadde etabuse nga buli ludda olwa Kuteesa n’olwa Ssekikubo, buli muwagizi ky’akwata ky’akuba munne. Kuteesa yawaliriziddwa okugwa kkava mu nsiko, era olutalo bwe lwasiriikiridde n’avaayo n’alinnya emmotoka ye n’agenda.

Aba NRM okulwana kyaddiridde Em

Mu kiseera kino, embeera yabadde etabuse nga buli ludda olwa Kuteesa n’olwa Ssekikubo, buli muwagizi ky’akwata ky’akuba munne. Kuteesa yawaliriziddwa okugwa kkava mu nsiko, era olutalo bwe lwasiriikiridde n’avaayo n’alinnya emmotoka ye n’agenda.

Aba NRM okulwana kyaddiridde Emmanuel Sekimpi, akulira ebyokulonda mu NRM e Sembabule okusoma  amateeka agaabadde galina okugobererwa mu kulonda kuno nga tekunnatandika kyokka Ssekikubo (Lwemiyaga) n’asitukirawo n’akwata akazindaalo nga bw’abuuza ekyabadde kigenda okukolebwa olw’abantu b’eggombolola y’e Lwemiyaga abaabadde tebannaba kulonda bakulembeze baabwe.

“Twayawukanye eggulo nga ffenna tukkaanyizza nti olwaleero tusooke kulonda lukiiko lwa ggombolola y’e Lwemiyaga era twavuddewo nga teruliiwo. Kati olwaleero mutegeeza nti ffe twetabe mu kulonda nga tumaze n’okussaayo ebbaluwa yaffe eraga okwemulugunya?” Ssekikubo bwe yabuuzizza.  Sekimpi n’amuddamu nti ekirungi baabadde bamaze okusssaayo okwemulugunya nga n’olwekyo balina kulinda balabe ebyabadde birina okuva mu bakulu okwemulugunya gye kwatwaliddwa.

Wano Ssekikubo nga yeegattiddwaako abawagizi be, baalinnye enkandaggo nga bagamba nti kyabadde tekisoboka kubaleka bbali kubanga ggombolola y’e Lwemiyaga yabadde teyinza kusigalira sso nga disitulikiti y’e Sembabule yonna ekolebwa amagombolola abiri gokka ery’e Lwemiyaga ne Mawogola eya Sam Kuteesa.

Mu kiseera kino abawagizi ba Kuteesa baabadde balekaana ate nga n’aba Sekikubo bwe baanukula. Poliisi yasazeewo okugoba buli muntu  mu kisaawe awaabadde wagenda okulonderwa naye abamu bwe baalemeddemu poliisi kwe kusalawo okubakubamu omukka ogubalagala ne balyoka bagumbulukuka bonna ne babuna emiwabo kyokka ye  Ssekikubo n’abantu abatonotono nga mu bano mwabaddemu ne Sekimpi baasigaddewo.

Mu batono abaasigadde mwe mwavudde akakundi k’abavubuka abaalumbye Ssekikubo nga baagala okumukuba kyokka omukuumi we  eyategeerekeseeko erya Alex n’agezaako okubaziyiza.

Omuduumizi wa poliisi y’e Sembabule wano yalagidde Alex okukwata emmundu agizze mu mmotoka ne Alex n’akikola kyokka ng’asigazizza akabundu akatono mu nsawo ye aba poliisi ke bataalabye.

Abavubuka  bwe baalabye nga Alex, emmundu agizzizza mu mmotoka ya Ssekikubo ate kwe kuddamu okulumba Ssekikubo bamukwate. Wano Alex n’aggyayo pisito n’agibasongamu ne babuna emiwabo.

Mu kavuvung’ano ne poliisi yakubye amasasi, olwo  Nsamba n’alumba Alex amuggyeko emmundu ne beenyoola. Alex yakubye essasi eryakutte Nsamba.
Abaserikale ba poliisi abaabadde bakutte Alex olwalabye omusaayi nga guva mu Nsamba  ne bagezaako okuyamba Nsamba olwo Alex n’adduka mu mmotoka n’aggyayo emmundu ennene n’abeera na bbiri.

Ssekikubo yabadde ataamye n’agenda asambasamba ebbaafu n’ebirala ebyaleeteddwa olw’okulonda. Pisito ye gye yabadde asonsese mu musipi yavuddeyo.

Kuteesa yavudde gye yabadde yeekukumye n’alagira okulonda kugende mu maaso kyokka aba Ssekikubo ne bagaana. Okulonda kwayimiridde. Kyokka bwe baayabuse ate aba Kuteesa ne bakomawo ne balonda.

Kuteesa yalondeddwa ku bwassentebe, Omwandiisi ye Elly Muhumuza, Omuwanika ye Enid Nankunda. Ow’Ebyamawulire  Patrick Nkalubo ne Hanifa Kawooya ye w’abakyala era nga bonna tebaavuganyiziddwa.


Aba NRM e Sembabule balwanye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...