TOP

UPDF esse aba al -Shabaab 10

Added 1st August 2010

Abattiddwa baabadde beesibye bbomu ne bagezaako okulumba enfo za UPDF bazeetulisezeeko zitte abantu mu kibuga Mogadishu, kyokka ne babalabuukirira nga tebannatuukiriza miisoni yaabwe.

Bino byaddiridde bannalukalala okulangira nga bwe baabadde bamaze okusalawo okukola olulumba ssinziggu ku buli ki

Abattiddwa baabadde beesibye bbomu ne bagezaako okulumba enfo za UPDF bazeetulisezeeko zitte abantu mu kibuga Mogadishu, kyokka ne babalabuukirira nga tebannatuukiriza miisoni yaabwe.

Bino byaddiridde bannalukalala okulangira nga bwe baabadde bamaze okusalawo okukola olulumba ssinziggu ku buli kifo awali abajaasi ba UPDF n’amagye ga AMISOM agakuuma eddembe mu Somalia ne ku bitebe bya Uganda ne Burundi mu nsi yonna.

Omuduumizi waabwe yagambye bwati: “Baganda baffe mwenna e Chechnya, Pakistan, Afghanistan n’awalala wonna okwetoloola ensi, mulumbe era musesebbule ebitebe by’amawanga ga Uganda ne Burundi,” Sheikh Abu Mansur, omu ku bakulemnbeze ba al-Shabaab bwe yalagidde mu bubaka bwe yasindikidde ku ntambi za vidiyo ku mikutu gya yintaneti.

Kyokka Lt. Gen. Katumba yagambye nti aba al Shabaab UPDF yabeetolodde dda mu Somalia era bagenda kubatuula ku nfeete era nti kijja kubeera kizibu abatujju abo okuddamu okukola obulumbaganyi ku ggwanga lyaffe.

“Obutendeke tulina obumala okufufuggaza omulabe yenna. Kony eyali afunze ekyonga aliwa? Bwe twali tugenda e Somalia mu 2007 baatulagula obutawezaayo wadde emyezi ebiri, kati tuli mu myaka 3. Kati al Shabaab basigazza bigambo kubanga  ebikolwa byabwe tujja kubitangira,”Katumba bwe yagambye eggulo.

Omwogezi w’amagye agakuuma e Somalia aga AMISOM Maj. Ba-Hoku Barigye yategeezezza eggulo nti ku Lwokutaano, ku Royal Hotel mu bitundu by’e Bondere ewali okulwanagana okw’amaanyi, aba UPDF abaabadde bayamba ku ggye lya gavumenti ya Somalia erya TFG basse aba al-Shabaab abaabadde bategeka ennumba ku nfo za UPDF.

“Baabadde mu mmotoka kwe baabadde basimbye emmundu nga bategeka kutulumba ne tubeesooka era tewaavuddewo wadde omu bwati nga mulamu,” Barigye bwe yategeezezza eggulo.

Yawadde aba al Shabaab amagezi bave ku by’okulwana bagende bateese n’aba Gavumenti kubanga tebalina busobozi bubiisanya na UPDF n’agamba bajja kubatimpula okutuusa lwe banaabamalawo, bwe batakkirize kuteesa.
Maj. Barigye agamba nti bettanira okulaba nga bannansi ba Somalia babeera mu mirembe nga bafuna buli ekyetaagisa mu bulamu obwabulijjo nga tebateganyizibwa ntalo.

 Nga July 29, Maj. Barigye yagambye nti, ku luguudo Talebunka, mu ditulikiti ya Hodan emmotoka ""technicals"" ekitegeeza emmotoka ennawunyi okusimbiddwa emizinga zaabadde zigezaako okulumba amagye ga TFG ne AMISOM kyokka ne bazesooka zonna ne zisaanyizibwawo n’abazibaddeko bonna.

Nga  July 26, emmotoka ya balumiramwoyo okwabadde abagwira abawagira al Shabaab 3 n’aba al shabaab abalala yakubiddwa ku luguudo Masira mu disitulikiti ye Huriwa mu mambuka ga Mogadishu. Bonna abaabaddeko battiddwa.

Ate nga  July 28  mu disitulikiti ya Huriwa mu kizimbe ekiyibwa Masra, mmotoka ya balumiramwoyo okwabadde abakugu basatu abayamba al shabaab okuva ebweru wa Somalia, aba AMISOM baagikubye n’eyabikiramu bbomu ez’amaanyi era balumiramwoyo ababaddemu baafiiriddemu.

“Okubwatuka kwayo kwabadde kwa maanyi nnyo era emmotoka ezaabadde okumpi zaayonoonese n’ebintu ebirala ebyabadde okumpi, Barigye bwe yagambye.

Yantegeezezza nti kuno kwabadde kufiirwa kwa maanyi nnyo eri al Shabaab nti n’abalwanyi baayo abalala abaabadde okumpi awo, baafiridde mu kifo kino n’emmotoka zaabwe.

“Tusinziira ku bizimbe byaffe okubamaliriza. Betwakubye e Bondere twasinzidde ku wooteeri ya Juba” Barigye bwe yategeezezza. Juba Hotel yesudde ekitundu kya Bondere kilomita eziwerako.

UPDF esse aba al -Shabaab 10

More From The Author

Ab

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...