TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • ‘Neerabiddeko ku lutalo wakati wa UPDF n’aba al -Shabaab’

‘Neerabiddeko ku lutalo wakati wa UPDF n’aba al -Shabaab’

Added 25th July 2010

Emmundu ezaabuli kika obwedda zikozesebwa nga mulimu eziduduma, eziboggola n’eziri ng’azeesooza. Nze ne munnamawulire munnange Joshua Kato owa New Vision baabadde bamaze dda okutuwa ebikoofiira eby’oku mutwe ne bujaketi obutayitamu masasi.

Aba UPDF baakubye emmundu eyantokosezza nâ€

Emmundu ezaabuli kika obwedda zikozesebwa nga mulimu eziduduma, eziboggola n’eziri ng’azeesooza. Nze ne munnamawulire munnange Joshua Kato owa New Vision baabadde bamaze dda okutuwa ebikoofiira eby’oku mutwe ne bujaketi obutayitamu masasi.

Aba UPDF baakubye emmundu eyantokosezza n’ebyenda era obwedda n’ekizimbe kye tulimu kikankana olw’emizinga obwedda egikubwa n’egya ttanka majegere wamu n’emmundu ezisimbiddwa waggulu ku kizimbe.

Nnali nnakoma okuwulira ku mmundu ezitokota bweziti mu 1986 amagye ga NRA bwe gaali gawamba ekibuga Kampala nga bubeefuka n’Abanyanya abaali basimbye amakanda mu Binyira e Wandegeya. Olutalo lwamalidde ddala kumpi essaawa ttaano.

Okulwana okwasinze kwabadde mu bitundu by’e Bondere n’okumpi n’amaka g’obwapulezidenti. Olutalo nga lukka-kkanye, omuduumizi w’eggye lya Uganda, Col. Mikeal Odonga ku Lwomukaaga yatulambuza   ebifo eby’enjawulo bye bawambye ku Al Shabaab kyokka era nga tukyali mu jaketi ezitayitamu masasi wamu n’ebikoofiira ebyambalwa buli mujaasi ali e Somalia olw’okutya nti abatujju basobola okukuba amasasi.

Enfo zonna UPDF ekolera awamu ne Burundi n’amagye ga Somalia aga TFG ze yaakawamba bukya bagendayo mu March wa 2007, bataddeyo emmundu zisseruwandula masasi ne ttanka zimajegere eziwandiikiddwako AU ekitegeeza Africa Union.

Emmundu kuliko eziriko ebitangaaza ezisobola okukuba omulabe ne bw’abeera mu buwanvu okuva mu Paaka enkadde okutuuka e Kibuye ate nga zikubira ddala oli ky’aba ayagadde. Bw’aba ayagadde kukuba kutu oba nnyindo era ky’akuba. Nnatunudde mu kitangaaza kyayo nga mulimu akasaalaba era omujaasi eyagibadde ko yagambye nti ky’ateekako akasaalaba wakati ky’akubira ddala. Emmundu eno omujaasi gye yayise ‘sniper’ eriko ne sayirensa eziyiza eddoboozi ng’ezibibwa ku mudumu gwayo bwe baba tebaagala gwe bakuba kuwulira kuvuga kwayo. Bakomando abazikozesa bali ku busolya bw’ebizimbe waggulu.

Wansi mu nguudo ezimu, waliwo agamotoka ga Caspir (Mamba) ageetikka abalwanyi era zisibiddwako emmundu zisseruwandula masasi. Ttanka ziri mu bika eby’enjawulo era buli kifo awali UPDF, zisimbiddwawo. Waliwo T55 eziriko emmundu eya 107mm esobola okuyita mu kizimbe oba okukikuba ne kigwaawo n’endala.

Mu mmundu endala waliwo PK Machinegun oba G2 eziri mu 7.6mm ng’essasi erizivaamu lizitowa kkiro 15 era lidduka ku sipiidi ya mmita 716 buli katikitiki. Waliwo endala eziringa akasepiki 20mm, Canon Launcher bw’efulumya essasi ne likuba ku kisenge oba okugwa wansi, mu- vaamu emisumaali n’eggirita ebikufumita n’okalirawo.

Omwogezi Chris Magezi yategeezezza nti UPDF erina enkambi 10 okuli Al Jazeera I, Al Jazeera II, Base Camp, Immigration, Shakalala, Sea Port, Shangani, Juba Hotel, Bondere ne Uruba Hotel.

‘Neerabiddeko ku lutalo wakati wa UPDF n’aba al -Shabaab’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...