TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Abatuuze baziikudde omulambo gw’omwana eyasaddaakibwa

Abatuuze baziikudde omulambo gw’omwana eyasaddaakibwa

Added 8th July 2010

Okutuuka okwesala akajegere kiddiridde abatuuze n’abazadde b’omwana ono okufuna amawulire nti kkooti yayimbudde omugagga Eric Kalwana amannyiddwa nga Mansita eyakwatibwa omwaka oguwedde n’asimbibwa mu kkooti ng’avunaanibwa omusango gw’okwetaba mu kutta omulaalo we n’amweziikira.

Okutuuka okwesala akajegere kiddiridde abatuuze n’abazadde b’omwana ono okufuna amawulire nti kkooti yayimbudde omugagga Eric Kalwana amannyiddwa nga Mansita eyakwatibwa omwaka oguwedde n’asimbibwa mu kkooti ng’avunaanibwa omusango gw’okwetaba mu kutta omulaalo we n’amweziikira.

Olutalo luno lwabaddewo ku Lwokusatu ku kyalo Samalia okumpi n’ekitebe ky’Obulabirizi bwa West Buganda e Kako mu Ggombolola y’e Mukungwe mu Masaka mu maka ga Genwario Bwanika ne mukyala we Harriet Nakatte.

Abazadde bano nga beegattiddwako ab’ekyalo baziikudde amalaalo omwaziikibwa omwana waabwe Vincent Tebitendwa Kirangwa (17) ne baggyamu amagumba n’akawanga ne babigulira olubugo ne kkeesi endala mwe baabitadde olwo ne bagikunguzza nga bagyolekezza Poliisi.

Abatuuze bano babadde bakutte ebipande ebivumirira ekisaddaaka baana ate n’okusaba omugagga Kalwana addemu okukwatibwa aggalirwe ku musango gwe gumu ogwamukwasa omwaka oguwedde ogw’okwenyigira mu kutta.

Kalwana eyali omusomesa mu Kako SS alina faamu e Kako wamu ne wooteeri mu kibuga Masaka. Yasimbibwa mu kkooti mu October omwaka oguwedde mu maaso g’akulira abalamuzi abato e Masaka n’amuggulako omusango gw’obutemu.

Kirangwa attibwa n’akakumbi
Kkooti yategeeza nti Kalwana ng’asinga kumanyika nga Mansita (olw’okuba yali musomesa) wakati wa April 9 ne April 18,2009  e Kako ng’ali n’abantu abalala abaali tebannakwatibwa agambibwa okwetaba mu kutta omulaalo we Vincent Kirangwa Tebitendwa.

Kalwana omusango ng’amaze okugusomerwa,omulamuzi teyamuganya kubaako ky’ayogera bwatyo n’amugamba nti omusango ogwamuggulwako gwa nnaggomola gw’atakkirizibwa kubaako ky’agunyegako okutuusa ng’asimbiddwa mu kkooti esinga awo gye yalina n’okusabira okweyimirirwa.

Kigambibwa nti Kalwana yeeyambisa akakumbi n'atta omugenzi Kirangwa eyali omulaalo we ng’ali n’omuntu omulala n’oluvannyuma omulambo gwe ne baguziika ku kasaka oluvannyuma lw’okugusalako ebitundu ebimu.

Abazadde baalumiriza nti omwana waabwe yali amaze emyaka ebiri ewa Kalwana ng’amukozesa ng’omulaalo we mu nte naye eby’okufa kw’omwana waabwe baabimanyira ku mawulire agaasasaana oluvannyuma lw’abatuuze okuzuula we baziise omuntu ne wasangibwawo engoye ezefaananyiriza n’eza Kirangwa.

Kalwana akwatibwa Poliisi n’ayimbulwa
Poliisi y’e Kako yasooka okukwata Kalwana kyokka n’emuyimbula era n’etatwala nsonga zino ng’ezirimu eggumba nga wadde abaali bagikulira baatuukawo ku kasala omwana.
 
“Bwe twategeeza poliisi y’e Kako n’etatuwuliriza, ensonga ne tuzongerayo mu ofiisi ya Pulezidenti mu kitongole ekikulirwa Capt. Kakooza Mutale n’asindika abakugu abaaziikulayo omulambo n’okutuggyako omusaayi ne bibitwala okubyekebejja”.

Bwanika agamba nti wadde baasaba Kalwana abannyonnyole engeri omwana waabwe gye yavaamu ewuwe n’okutuuka okufa n’atabategeeza binnyonnyoka kyokka Kalwana yadda mu kubakuddaalira.

Oluvannyuma Kalwana yakwatibwa bambega ba Kakooza Mutale abaakulemberwa Saalongo Gabagweri okuva mu ofiisi ya Kakooza Mutale nga September 24,2009 n’atwalibwa e Kampala gye baamuggya okusimbibwa mu kkooti.
 
Abatuuze kigambibwa nti olwawulidde nti Kalwana ayimbuddwa ne batabuka kwe kwegugunga.   Wabula baabadde boolekedde ekitebe kya Poliisi mu Masaka, Omuduumizi wa Poliisi e Masaka, Titus Byaruhanga yabazingizza ng’ali n’abasirikale be ne bakuba amasasi mu bbanga agababunyizza emiwabo ne basuulawo kkeesi.

Abatuuze wano baatabuse ne basuulira Poliisi omulambo nga bwe babawereekereza ebigambo nti,’Oba mwagala wuuyo mumulye.’

Oluvannyuma DPC Byaruhanga yabakakkanyizza n’asaba abazadde bakakkane kuba ye yakajja mu ofiisi agenda kunoonyerezza fayiro y’omusango n’okumanya bwe yatambuzibwa alyoke ababuulire ekiddako era n’abalagira baddemu okuziika omulambo gw’omwana ono kyokka ng’obudde buzibye ne basalawo baddemu baziike olunaku oluddako.
 

Abatuuze baziikudde omulambo gw’omwana eyasaddaakibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...

Ssentebe Mugabi (wakat)i ng’asala keeki n’abamu ku bannamawulire abasakira Mu Greater Masaka.

Ssentebe w'e Rakai asiibudd...

Ssentebe wa disitulikiti y'e Rakai, Robert Benon Mugabi  asiimye bannamawulire abakolera mu Greater Masaka n'agamba...