TOP

Emmotoka bagyokezza

Added 6th July 2010

Emmotoka abatuuze ey’ekika kya Ipsum nnamba UAN-812L abatuuze baagiteekedde omuliro nga baagala kutta eyabadde agivuga.
Abasajja bano bazze ne ku Mmande akawungeezi mu kabuga k’e Lubugumu-Ndejje ne beesogga edduuka lya Meddie Nsubuga.

Baamulimbye nti bbo Basudaani tebalina ssen

Emmotoka abatuuze ey’ekika kya Ipsum nnamba UAN-812L abatuuze baagiteekedde omuliro nga baagala kutta eyabadde agivuga.
Abasajja bano bazze ne ku Mmande akawungeezi mu kabuga k’e Lubugumu-Ndejje ne beesogga edduuka lya Meddie Nsubuga.

Baamulimbye nti bbo Basudaani tebalina ssente za wano balina ddoola zokka nga baagala akasawo ka ssukaali, omuceere ne butto. Omu ku basajja bano yabadde mu byambalo by’amagye nga kuliko cceppe za ‘Lieutnant’.

Kyokka Nsubuga bwe yaba-sabye ssente ng’amaze okuzibalamu azizze mu za Uganda yagenze okuzikebera nga njingirire n’akuba enduulu.

Abatuuze bwe bazze eyabadde mu byambalo by’ekijaasi n’asikayo baasitoola n’adduka era abantu baatidde okumwang’anga ne banyweza munne Allan Kayiwa eyagambye nti mutabani w’omukyala Judith Namatovu alina ebbaala e Makindye. Ono baamukubye omutwe ne bagwasa n’eriiso erimu katono balitundulemu ng’abalala bwe bali ku mmotoka bagyasa endabirwamu bwe baamaze ne bagikumako omuliro.

Kyokka Kayiwa bwe baamukubye yeegaanyi nti ssi mubbi kyokka nti yapangisiddwa omusajja eyabadde mu byambalo by’amagye okumuggya ku siteegi y’e Namasuba w’avugira sipensulo amutwale e Lubugumu-Ndejje.

Omumyuka wa Ssentebe wa LC I e Lubugumu Ssaalongo Edward Kalule n’aba RRU okwabadde Ssalongo Sankara be beetabye mu muyiggo guno. Sankara yategeezezza nti abasajja bano ‘babbi’ era guno si gwe gusoose okubakwata.

DPC wa poliisi e Katwe, (ASP) Lauben Wasiima n’akulira bambega Mw. Vincent Okurut baategeezezza nti mu mmotoka eyayokeddwa mwasangiddwamu ennamba enjingirire eziteeberezebwa okuba nga zibadde zikozesebwa mu bubbi.

Wasiima yagambye nti kiteeberezebwa mu Ipsum mwabaddemu amasasi agaatulise abatuuze nga bagyokya. Kayiwa ajjanjabirwa e Mulago ng’akuumwa poliisi egenda okumunoonyerezaako.

Emmotoka bagyokezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...