TOP

‘Kabaka temumuyisaamu maaso’

Added 30th June 2010

“Mukimanye nti buli ayisaamu Kabaka amaaso aba azannyira ku mpologoma enkambwe. Bw’eba esirise gwe oyinza okulowooza nti  ezannyirwako kyokka bw’ogitankuula eba nkambwe. N’olwekyo tukomye okumala gazannyira ku mpologoma kubanga kisolo kikambwe nnyo’” Bukenya bwe yagambye ng’ alambula

“Mukimanye nti buli ayisaamu Kabaka amaaso aba azannyira ku mpologoma enkambwe. Bw’eba esirise gwe oyinza okulowooza nti  ezannyirwako kyokka bw’ogitankuula eba nkambwe. N’olwekyo tukomye okumala gazannyira ku mpologoma kubanga kisolo kikambwe nnyo’” Bukenya bwe yagambye ng’ alambula mwoleso gw’ebyobulambuzi n’obusuubuzi ogubumbujjira mu Lubiri e Mmengo eggulo era nga bino yabyogedde atunuulira empologoma  eyayoleseddwa mu Lubiri.

Yayongeddeko nti Abaganda n’abatali Baganda balina okuwa Empologoma ya Buganda ekitiibwa baleme kugiyisaamu maaso nti kubanga nayo nkambwe esobola n’okuluma.

Nga y’akatuuka ku Bulange, Bukenya yayaniriziddwa Katikkiro Walusimbi ng’ali n’abamyuka be Ambassada Emmanuel Ssendaula ne Hajji Yusuf Nsambu. Bukenya era yasoose kuyingira mu ofiisi ya Katikkiro gye yasinzidde n’akalaatira Abaganda okusooka okuleka okulowooza ebyobufuzi wabula bakole bagaggawale n’oluvannyuma balyoke babirowooze nti kubanga tewali mwavu ayinza kufuga ng’assibwamu ekitiibwa.

Eno gye yavudde n’alambula ekitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda ku wankaaki wa Bulange ekya Buganda Tourism Centre n’oluvannyuma Minisita Florence Nakiwala Kiyingi n’amulambuza myuziyamu eyakoleddwa ku wankaaki wa Twekobe eyakoleddwa okuterekamu ebyafaayo bya Kabaka Mutebi gye yatenderezza omutindo gw’eriko gwe yageraageranyizza kw’ezo eziri mu mawanga agaakula edda.

Bwe yatuuse mu lusuku lwa Nnabagereka Bukenya teyasiimye bitooke ebimu ku byasimbibwa mu lusuku luno era n’asaba Katikkiro aweebwe akatundu ku ttaka lyalwo asimbemu ebitooke ebiganda eby’edda abantu bongere okubiyigirako n’okumanya obulungi bwabyo n’obuwangaazi.

Oluvannyuma Bukenya yayogedde eri abantu n’abakubiriza okukola ennyo basobole okwetuusaako bye baagala, okujjumbira omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi, n’okuddabiriza amasiro ga Ssekabaka Suuna e Wamala ge yagambye nti makulu nnyo mu Bwakabaka nti kyokka embeera gye galimu mu kiseera kino yennyamiza.
Ye Minisita Nakiwala yasabye abantu okwettanira obulambuzi.   

‘Kabaka temumuyisaamu maaso’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...