TOP

Kkooti ewadde aba CBS ne Gavt. obukwakkulizo

Added 20th April 2010

Mu lutuula lwa kkooti Enkulu olwabadde olw’ebbugumu eggulo, omulamuzi Vincent Zehurikize yalagidde  enjuyi zombi okudda mu kkooti nga May 17, 2010, okumutegeeza bye  banaabeera bakkaanyizzaako.

Kyokka yagambye nti  ku olwo nga May 17, bagenda kutuula mu kyama mu ofiisi ye.  Alikkiriza baloo

Mu lutuula lwa kkooti Enkulu olwabadde olw’ebbugumu eggulo, omulamuzi Vincent Zehurikize yalagidde  enjuyi zombi okudda mu kkooti nga May 17, 2010, okumutegeeza bye  banaabeera bakkaanyizzaako.

Kyokka yagambye nti  ku olwo nga May 17, bagenda kutuula mu kyama mu ofiisi ye.  Alikkiriza balooya ba  gavumenti n’aba CBS  gattako abakozi ba CBS abalondemu.

 Abakozi ba CBS abasoba mu 100 baabaddeyo mu kkooti nga baakulembeddwa agikulira Godfrey Kaaya Kavuma.
Gavumenti yakiikiriddwa balooya  Margaret Apiny ne Elisha Bafiirawala ate CBS yayungudde balooya munaana okuva ku kkampuni ya Katende Sempebwa & Company Advocates. Baakuliddwa   Polof. Frederick Sempebwa ne John Katende.

Omulamuzi olwayingidde kkooti, Polof Sempebwa n’amutegeeza  nti beetegefu okutandika okuwoza.
Omulamuzi yategeezezza  nti  yabadde teyeewulira bulungi era singa si kutya  kwogerwako teyandizze.

Kwe kutegeeza enjuyi zombi nti kiri mu bulungi bwabwe okutegeeraganira ebweru wa kkooti nga bwe yasooka okubawa amagezi  n’alabula oludda lwa gavumenti nti omusango gwe baagiwaaabira gulimu eggumba.

Aba CBS nabo yabalabudde nti okutegeeragana ne gavumenti kibayamba kubanga bwe bataakikole, emisango  gitwala ebbanga ppanvu okuyita mu mitendera gya kkooti.

Ssempebwa kwe kugamba nti omulamuzi bwe  yabawa amagezi okutegeeragana ne gavumenti, baawandiikira Ssaabawolereza wa gavumenti  nga baagala bateese.

Kyokka yabaddamu aba CBS bamuwe ebirowoozo ku ngeri  gavumenti gy’eyinza okutegeeragana nabo.
“ Ffe ensonga zaffe twazisengeka bulungi mu mpaaba yaffe era zonna twagala zikolebweko n’okwekyo twewuunya nnyo Ssaabawolereza okutugamba bwatyo”, Sempebwa bwe yagambye.

Aba CBS baagala leediyo eggulwewo awatali bukwakkulizo,  abakozi baliyirirwe  ssente ze bafiiriddwa mu misaala ne leediyo eriyirirwe ssente z’efiiriddwa okuva lwe yaggalwa nga 10 September nti, 2009.  Aba CBS baagala ssente obuwumbi busatu okuva mu gavumenti

Sempebwa yagambye nti bakyanyweredde ku nsonga ezo, wabula beetegefu okuwulira gavumenti ky’ezoogerako.

Kkooti ewadde aba CBS ne Gavt. obukwakkulizo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.