“Ekikulu twagala mwegatte ate mukomye okulowooza nti liizi yaweereddwa Kayongo. Liizi yaweereddwa basuubuzi bonna abakolera mu katale era Town Clerk Ruth Kijjambu yakirambise bulungi nti Kayongo aweeyo olukalala lw’amannya g’abasuubuzi bonna abakolera mu katale buli omu agalabe okuzuula alekeddwa ebbali,†Mwesige bwe yagambye.
Kyokka Kivumbi yakalambidde nti singa bye bakkiriziganyaako ew’aduumira Poliisi, Maj. Gen. Kale Kayihula eby’okukyuusa amannya ga kkampuni ya Kayongo tebikolebwa KCC yandigwa mu buzibu.
“Wadde liizi yatuweereddwa naye kkampuni eyagikwasiddwa tetukkiriziganya nayo era singa erinnya lyaayo terikyuka n’okussa omukono ku ndagaano ezirimu ebintu byetwakkiriziganyizzaako tetugenda kubikkiriza†Kivumbi bwe yagambye.
Kayongo yamwa-nukudde nti Kivumbi alowooza liizi yaweereddwa Kayongo ate nga y’abasuubuzi bonna era enteeseganya zigenda mu maaso ewa Kayi-hura okukola Kivumbi by’ayagala kubanga liizi y’abasuubuzi.
Obubaka bwa Museveni yabutisse Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Adolf Mwesige n’omuyambi we mu byobufuzi, Moses Byaruhanga ne bakkaatiriza liizi KCC ze yawadde abasuubuzi b’omu butale bwonna mu Kampala nti ntuufu era beetegeke okutandika okuzimba .
Mu nsisinkano eyabadde mu wooteeri ya Africana Museveni yabagambye nti takyayagala kuwulira ku nkaayana mu bakulembeze b’abasuubuzi nga bwe gubadde era n’asaba abakyalina okwemulugunya bakumwanjulire akukoleko ate n’abalowooza okugenda mu kkooti bakikomye.
 Ssentebe w’akatale k’e Nakasero, Godfrey Kakooza yayanjulidde minisita nti nabo baagala liizi yaabwe ekolebweko era ne basaba Town Clerk Ruth Kijjambu agira abeera mu kifo ekyo kubanga y’amanyi ensonga zaabwe.
Minisita yabagumizza nti mu bbanga ttono nabo bagenda kufuna liizi kubanga ensonga zaabwe zinatera okuva ewa ssaabawolereza wa gavumenti era kati zigenda kutwalibwa mu KCC ebawe liizi.
Abakulembeze b’abasuubuzi mu katale k’e Ntinda bamwanjulidde nti bannabwe baakozesezza olukujjukujju ne bafuna liizi okuva mu kitongole ky’eby’ettaka mu ggwanga ekya Uganda Land Commission. Mwesigye yalagidde liizi eno eyimirizibwe n’agattako nti ettaka bagenda kuliteekako envumbo.Â
Ab’eNateete beemulugunyizza nti akatale kaabwe kalina ebyapa bibiri ng’ekimu kya bannannyini ttaka ate ekirala kya KCC ate nti ekya KCC kigambibwa kyatwalibwa nnagagga Hassan Basajjabalaba.
Olukiiko lwetabiddwamu abakulembeze b’obutale 62 mu Kampala yenna.
Museveni alagidde aba Owino bave mu kkooti