TOP

Bbaasi egoyezza abasaabaze

Added 27th January 2010

Emmotoka ezaasoose okutuuka, poliisi yazizzizza ebbali w’oluguudo ate wano loole endala we yajjidde n’ewaba n’etomerako munaana.

Abasaabaze babiri baafiiriddewo ate abalala 47 baalumiziddwa nnyo - abamu yabamenye amagulu, abalala gaakutukiddeko ddala n’emikono (bano bw’obagatta nâ

Emmotoka ezaasoose okutuuka, poliisi yazizzizza ebbali w’oluguudo ate wano loole endala we yajjidde n’ewaba n’etomerako munaana.

Abasaabaze babiri baafiiriddewo ate abalala 47 baalumiziddwa nnyo - abamu yabamenye amagulu, abalala gaakutukiddeko ddala n’emikono (bano bw’obagatta n’abaagudde ku kabenje e Matugga baweza abasaabaze 80, (bonna bataawa).

Olwo essaawa zaabadde mu 5 ez’ekiro ku Lwokubiri. Bbaasi ya kkampuni ya Ideal Travel Express No. KBK 612D yasimbudde mu Kampala ng’egenda  Kigali mu Rwanda, bwe yatuuse ku  Kavule ekiro ku mayiro 19 ku lw’e Masaka  n’eyingirira  lukululana eyabadde efiiridde ku kkubo. Lukululana nayo yabadde ekubyeko ebintu.

Bbaasi  eyabadde edduka ennyo, yatomedde ensonda ya lukululana n’egiyuza ebbaati okuva mu maaso era  abasaabaze abaabadde batudde ku ludda bbaasi we yayulise, baalumiziddwa nnyo.

Poliisi yayimirizza emmotoka okuva ku njuyi zombi. Wano  loole Isuzu Box Body nnamba UAJ 366N eyabadde egenda ku lw’e Masaka we yajjidde ng’eri ku mbiro nnyingi. Yagaanyi okusiba  n’esaabala mmotoka endala munaana  ezaabadde zisimbiddwa ebbali w’oluguudo.

Abasaabaze abaabadde balaajanira mu bbaasi okuyambibwa ate beegattiddwako abaabadde mu mmotoka zino bakira nabo abawanjaga wakati mu bulumi olw’ebisago.

 Abamu ku baalumiziddwa baatwaliddwa mu ddwaaliro e Mpigi ate abalala e Mulago. OLuvannyuma n’abaabadde e Mpigi bazziddwa Mulago.

Abaalumiziddwa ennyo kuliko  Vincent Kyambadde 34, ow’e Masaka , Issa Kiggundu 23, ow’e Bushenyi, Tukase Mukula ne Deus Tumuno ab’e Congo, Adrian Chorivu, Steven Kasagga Kafeero ow’e Kigoowa Ntinda, Hamis Jabira ne Musa  Damba ab’e Rwanda, Koribu Muhozi ow’e Kiruhura n’abalala.

 abaadde tebanategerekeka bibakwatako olwembeera embi gye baabaddemu.

Emmotoka  ezaatomeddwa mu kabenje kano kwabaddeko ttippa UAH 621Y, Isuzu UAD 492S, Ipsum UAK 120D, Ipsum UAL 347E, Prado UAG 314H, Takisi UAH 076R. Zonna zaasikiddwa ne zitwalibwa ku poliisi y’e Mpigi.

Omuduumizi wa poliisi mu Mpigi,  Muky.Barbra Alungati yategeezezza nti dereeva wa  bbaasi yavugisizza kimama n’atagoberera bubonero bwabadde bulabula ku lukululana eyabadde afiiridde mu luguudo.
     

Bbaasi egoyezza abasaabaze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...