TOP

Omuwala bamuwambye ne bamutta mu bukambwe

Added 12th January 2010

Clare Nantege Kawuma, 24, abadde yaakamala ddiguli y’obwannansi era nga muwala wa Dr. Herman Joseph Kawuma  omutuuze wa Heritage zooni e Kansanga mu Kampala.

Kitaawe w’omugenzi omuto John Mary Kyewalabye eyanonye omulambo e Masaka annyonnyola bwati;

Ku Lwomukaaga ku makya, Nanteg

Clare Nantege Kawuma, 24, abadde yaakamala ddiguli y’obwannansi era nga muwala wa Dr. Herman Joseph Kawuma  omutuuze wa Heritage zooni e Kansanga mu Kampala.

Kitaawe w’omugenzi omuto John Mary Kyewalabye eyanonye omulambo e Masaka annyonnyola bwati;

Ku Lwomukaaga ku makya, Nantege yategeezezza nnyina nga bw’agenda ku mulimu e Mulago mu kibiina ky’obwannakyewa ekiyitibwa Baylor College Project. Nnyina kwe kumutuma ayitire mu bbaka ya Orient amuggyireyo ensimbi 1,000,000/- azimureetere ng’akomawo awaka olweggulo.

Ku ssaawa nga 10:00 ez’olweggulo, omugenzi yakubidde nnyina essimu n’amutegeeza nga bwe yabadde amaze okuggya ssente mu banka nti era alinako w’ali alya ku mmere oluvannyuma akomewo.

Wabula Nantege baamulinze okutuusa obudde lwe bwazibye nga tebamulabako.

Baatandise okunoonya era kwe kukubira essimu Grace Ssekamatte mwannyina w’omugenzi akolera mu kitongole kya UMEME  e Masaka ne bamutegeeza nga mwannyina bwe batamulaba.

Omugenzi Nantege abadde atera okugenda e Masaka n’asulayo era mwannyina Ssekamatte yanoonyezza mu bifo byonna mw’atera okusula ng’agenze e Masaka nga taliiyo.

Wabula ku Ssande, waliwo eyakubidde Ssekamatte essimu n’amutegeeza nga bwe waliwo omulambo gw’omuwala ogutaabaddeko kiwandiiko kyonna ogwasangiddwa ku kkubo poliisi n’eguggyawo n’egutwala mu ggwanika.

Mwannyina w’omugenzi bwe yatuuse mu ggwanika, okwetegereza nga ye mwannyina kwe kukubira abazadde essimu abaagenze oluvannyuma ne  baggyayo omulambo ku Mmande.

Nantege yatemuliddwa ku kasozi Bwala okumpi n’ekibuga Masaka era omutemu yamukubye jjinja ku mutwe ne gubetenteka era teyasangiddwako kintu kyonna nga ne sente ze yabadde aggye mu banka zaabadde zitwaliddwa.

Ensonda mu poliisi zategeezezza nti omuwala ono yandiba nga yawambiddwa buwambibwa okuva mu Kampala n’atwalibwa e Masaka kyokka nga mu kumutwala, yasoose kunywesebwa bintu ebyamuwunzizza n’aba nga takyategeera.

Ensonda zoongerako nti we baamuttidde, tewasangiddwawo nsitaano yonna ekiraga nti yaleeteddwa ng’agonze era olwamutuusizza awo omuntu n’amukuba ejjinja eryamuttiddewo nga teyeerwanyenako.

Dr. Male Mutaawe ow’omu ddwaliro ly’e Masaka eyakebedde omulambo gw’omugenzi, yaguggyemu omwana abadde aweza emyezi etaano nga mulenzi.Poliisi omulambo yaguggyemu obwongo n’ebutwala e Mulago okubukebera okulaba oba waliwo ebiragalalagala ebyasoose okuweebwa omugenzi nga tannattibwa.

Waliwo ensonda ezaagambye nti Nantege abadde acanga abasajja nga waliwo omusajja ali ebweru w’eggwanga ng’atera okuweereza ssente ng’aziyisa mu Western Union kyokka ate nga waliwo muganziwe omulala mu Kampala ng’ono alowoozebwa nti y’abadde nnannyini lubuto.

Akulira bambega ba poliisi e Masaka , Steven Etyang yategeezezza nti bagguddewo fayiro nnamba CRB118/2010 okunoonya n’okuzuula abaatemudde omugenzi.

Omulambo gwa Nantege eggulo ku Lwokubiri gwatwaliddwa e Bukuumi mu disitulikiti y’e Kibaale gye gwaziikiddwa.

 

Omuwala bamuwambye ne bamutta mu bukambwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.