TOP
  • Home
  • Abanoonya
  • Abayaaye balemesezza Ssebaana okugenda mu kkooti

Abayaaye balemesezza Ssebaana okugenda mu kkooti

Added 3rd December 2009

Basindise looya Abdul Kiwanuka ategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu, Vincent Zehurikize nti kkooti esooke ebawe obukuumi obumala okubawonya okutuusibwako obulabe abawagira Sebaggala.

Kyokka omulamuzi bino abigaanyi n’agamba nti ogwo mulimu gwa poliisi wabula si kkooti era n’alagira

Basindise looya Abdul Kiwanuka ategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu, Vincent Zehurikize nti kkooti esooke ebawe obukuumi obumala okubawonya okutuusibwako obulabe abawagira Sebaggala.

Kyokka omulamuzi bino abigaanyi n’agamba nti ogwo mulimu gwa poliisi wabula si kkooti era n’alagira bagende bawoze ku Lwokutaano nga December  4 kubanga poliisi ekola ku byokwerinda weeri.

Sebaggala ne banne basatu okuli Rogers Fungo, Peter Kulazikulabe ne Ddumba Kulazikulabe, baawawaabira abakulembeze ba DP nga babavunaana kugaana kutegeka ttabamiruka wa kibiina.

Wiiki ewedde omusango lwe gwatandika, ekibinja ky’abavub-uka abagamba nti bawagira Sebaggala balwana n’abakulembeze ba DP ku ludda lwa Sse-baana nga babavunaana kweremezza mu bukulembeze.

Baali bateeze Lukwago  bamukube kyokka poliisi n’emukukusa n’ayita emanju wa kkooti nadduka. Bino looya eyasindikiddwa Lukwago yabite-geezezza omulamuzi nti byebitiisiza Ssebaaa ne Lukwago.

Sebaggala wiiki eno abadde ayisa ebirango ku leediyo ng’ayita abavubuka b’ekibinja kya Youth Brigade okugenda leero ku kkooti  ng’omusango guwulirwa

Abayaaye balemesezza Ssebaana okugenda mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....